< 箴言 12 >
1 喜愛管教的,就是喜愛知識; 恨惡責備的,卻是畜類。
Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi; naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2 善人必蒙耶和華的恩惠; 設詭計的人,耶和華必定他的罪。
Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama, naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu, naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
4 才德的婦人是丈夫的冠冕; 貽羞的婦人如同朽爛在她丈夫的骨中。
Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima, naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6 惡人的言論是埋伏流人的血; 正直人的口必拯救人。
Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi, naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala, naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8 人必按自己的智慧被稱讚; 心中乖謬的,必被藐視。
Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa, naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera, asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye, naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
11 耕種自己田地的,必得飽食; 追隨虛浮的,卻是無知。
Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi, naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe, naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
13 惡人嘴中的過錯是自己的網羅; 但義人必脫離患難。
Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana, naye omutuukirivu awona akabi.
14 人因口所結的果子,必飽得美福; 人手所做的,必為自己的報應。
Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke, n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
15 愚妄人所行的,在自己眼中看為正直; 惟智慧人肯聽人的勸教。
Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye, naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17 說出真話的,顯明公義; 作假見證的,顯出詭詐。
Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu, naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18 說話浮躁的,如刀刺人; 智慧人的舌頭卻為醫人的良藥。
Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20 圖謀惡事的,心存詭詐; 勸人和睦的,便得喜樂。
Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi, naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu, naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
22 說謊言的嘴為耶和華所憎惡; 行事誠實的,為他所喜悅。
Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira ab’amazima.
Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi, naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye, naye ekkubo ly’ababi libabuza.
27 懶惰的人不烤打獵所得的; 殷勤的人卻得寶貴的財物。
Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe, naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.