< 俄巴底亞書 1 >
1 俄巴底亞得了耶和華的默示。 論以東說: 我從耶和華那裏聽見信息, 並有使者被差往列國去, 說:起來吧, 一同起來與以東爭戰!
Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya. Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu. Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda, Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti, “Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
2 我使你-以東在列國中為最小的, 被人大大藐視。
“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, era olinyoomererwa ddala.
3 住在山穴中、居所在高處的啊, 你因狂傲自欺, 心裏說:誰能將我拉下地去呢?
Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
4 你雖如大鷹高飛, 在星宿之間搭窩, 我必從那裏拉下你來。 這是耶和華說的。
Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama.
5 盜賊若來在你那裏, 或強盜夜間而來- 你何竟被剪除- 豈不偷竊直到夠了呢? 摘葡萄的若來到你那裏, 豈不剩下些葡萄呢?
“Singa ababbi babajjira, n’abanyazi ne babalumba ekiro, akabi nga kaba kabatuuseeko. Tebandibabbyeko byonna bye baagala? Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde, tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
6 以掃的隱密處何竟被搜尋? 他隱藏的寶物何竟被查出?
Esawu alinyagulurwa, eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
7 與你結盟的都送你上路,直到交界; 與你和好的欺騙你,且勝過你; 與你一同吃飯的設下網羅陷害你; 在你心裏毫無聰明。
Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo, Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula; abo abalya emmere yo balikutega omutego, balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
8 耶和華說:到那日, 我豈不從以東除滅智慧人? 從以掃山除滅聰明人?
“Ku lunaku olwo, sirizikiriza bagezi b’e Edomu, abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
9 提幔哪, 你的勇士必驚惶, 甚至以掃山的人都被殺戮剪除。
“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya, era na buli muntu mu nsozi za Esawu alittibwa.
10 因你向兄弟雅各行強暴, 羞愧必遮蓋你, 你也必永遠斷絕。
Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo, oliswazibwa. Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 當外人擄掠雅各的財物, 外邦人進入他的城門, 為耶路撒冷拈鬮的日子, 你竟站在一旁,像與他們同夥。
Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo, nga banyaga obugagga bwa Isirayiri, ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye, ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi, wali omu ku bo.
12 你兄弟遭難的日子, 你不當瞪眼看着; 猶大人被滅的日子, 你不當因此歡樂; 他們遭難的日子, 你不當說狂傲的話。
Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye eby’okulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda, newaakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 我民遭災的日子, 你不當進他們的城門; 他們遭災的日子, 你不當瞪眼看着他們受苦; 他們遭災的日子, 你不當伸手搶他們的財物;
Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange ku lunaku kwe baalabira obuyinike, wadde okubasekerera ku lunaku kwe baabonaabonera, newaakubadde okutwala obugagga bwabwe ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 你不當站在岔路口剪除他們中間逃脫的; 他們遭難的日子, 你不當將他們剩下的人交付仇敵。
Temulindira mu masaŋŋanzira okutta abo abadduka, wadde okuwaayo abawonyeewo mu biro eby’okulabiramu ennaku.
15 耶和華降罰的日子臨近萬國。 你怎樣行,他也必照樣向你行; 你的報應必歸到你頭上。
“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 你們猶大人在我聖山怎樣喝了苦杯, 萬國也必照樣常常地喝; 且喝且咽,他們就歸於無有。
Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma; balikinywa, babe ng’abataganywangako.
17 在錫安山必有逃脫的人, 那山也必成聖; 雅各家必得原有的產業。
Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona, kubanga lutukuvu, n’ennyumba ya Yakobo eritwala omugabo gwabwe.
18 雅各家必成為大火; 約瑟家必為火焰; 以掃家必如碎稭; 火必將他燒着吞滅。 以掃家必無餘剩的。 這是耶和華說的。
Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro, n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro. Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku, era baligyokya n’eggwaawo. Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu n’omu alisigalawo, kubanga Mukama akyogedde.
19 南地的人必得以掃山; 高原的人必得非利士地, 也得以法蓮地和撒馬利亞地; 便雅憫人必得基列。
“Abantu b’e Negebu balitwala olusozi Esawu, n’abantu ab’omu biwonvu balitwala ensi y’Abafirisuuti. Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya, ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 在迦南人中被擄的以色列眾人 必得地直到撒勒法; 在西法拉中被擄的耶路撒冷人 必得南地的城邑。
Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani, balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi; abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 必有拯救者上到錫安山,審判以掃山; 國度就歸耶和華了。
Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni, okufuga ensozi za Esawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.”