< 民數記 36 >

1 約瑟的後裔,瑪拿西的孫子,瑪吉的兒子基列,他子孫中的諸族長來到摩西和作首領的以色列人族長面前,說:
Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri.
2 「耶和華曾吩咐我主拈鬮分給以色列人為業,我主也受了耶和華的吩咐將我們兄弟西羅非哈的產業分給他的眾女兒。
Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala.
3 她們若嫁以色列別支派的人,就必將我們祖宗所遺留的產業加在她們丈夫支派的產業中。這樣,我們拈鬮所得的產業就要減少了。
Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako.
4 到了以色列人的禧年,這女兒的產業就必加在她們丈夫支派的產業上。這樣,我們祖宗支派的產業就減少了。」
Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”
5 摩西照耶和華的話吩咐以色列人說:「約瑟支派的人說得有理。
Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu.
6 論到西羅非哈的眾女兒,耶和華這樣吩咐說:她們可以隨意嫁人,只是要嫁同宗支派的人。
Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe.
7 這樣,以色列人的產業就不從這支派歸到那支派,因為以色列人要各守各祖宗支派的產業。
Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe.
8 凡在以色列支派中得了產業的女子必作同宗支派人的妻,好叫以色列人各自承受他祖宗的產業。
Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe.
9 這樣,他們的產業就不從這支派歸到那支派,因為以色列支派的人要各守各的產業。」
Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.”
10 耶和華怎樣吩咐摩西,西羅非哈的眾女兒就怎樣行。
Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
11 西羅非哈的女兒瑪拉、得撒、曷拉、密迦、挪阿都嫁了他們伯叔的兒子。
Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe.
12 她們嫁入約瑟兒子、瑪拿西子孫的族中;她們的產業仍留在同宗支派中。
Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.
13 這是耶和華在摩押平原-約旦河邊、耶利哥對面-藉着摩西所吩咐以色列人的命令典章。
Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

< 民數記 36 >