< 尼希米記 9 >
1 這月二十四日,以色列人聚集禁食,身穿麻衣,頭蒙灰塵。
Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe.
2 以色列人就與一切外邦人離絕,站着承認自己的罪惡和列祖的罪孽。
Ab’ezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
3 那日的四分之一站在自己的地方念耶和華-他們上帝的律法書,又四分之一認罪,敬拜耶和華-他們的上帝。
Ne bayimirira we baali ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu, n’oluvannyuma ne baatula era ne basinza Mukama Katonda waabwe okumala essaawa endala nga ssatu.
4 耶書亞、巴尼、甲篾、示巴尼、布尼、示利比、巴尼、基拿尼站在利未人的臺上,大聲哀求耶和華-他們的上帝。
Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery’omwanguka.
5 利未人耶書亞、甲篾、巴尼、哈沙尼、示利比、荷第雅、示巴尼、毗他希雅說:「你們要站起來稱頌耶和華-你們的上帝,永世無盡。耶和華啊,你榮耀之名是應當稱頌的!超乎一切稱頌和讚美。」
Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe ow’emirembe n’emirembe.” “Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna n’okutendereza kwonna.
6 「你,惟獨你是耶和華!你造了天和天上的天,並天上的萬象,地和地上的萬物,海和海中所有的;這一切都是你所保存的。天軍也都敬拜你。
Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, n’eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, n’ensi n’ebigirimu byonna, n’ennyanja n’ebigirimu byonna. Buli kintu gw’okiwa obulamu, era n’eggye ery’omu ggulu likusinza.
7 你是耶和華上帝,曾揀選亞伯蘭,領他出迦勒底的吾珥,給他改名叫亞伯拉罕。
“Ggwe Mukama Katonda, eyalonda Ibulaamu n’omuggya mu Uli eky’Abakaludaaya n’omutuuma Ibulayimu.
8 你見他在你面前心裏誠實,就與他立約,應許把迦南人、赫人、亞摩利人、比利洗人、耶布斯人、革迦撒人之地賜給他的後裔,且應驗了你的話,因為你是公義的。
Walaba omutima gwe nga mwesigwa gy’oli, n’okola naye endagaano, okuwa bazzukulu be ensi ey’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abayebusi, n’Abagirugaasi; era otuukiriza ekyo kye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.
9 「你曾看見我們列祖在埃及所受的困苦,垂聽他們在紅海邊的哀求,
“Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, n’owulira okukaaba kwabwe ku lubalama lw’Ennyanja Emyufu.
10 就施行神蹟奇事在法老和他一切臣僕,並他國中的眾民身上。你也得了名聲,正如今日一樣,因為你知道他們向我們列祖行事狂傲。
Waweereza obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero eri Falaawo, n’eri abakungu be, n’eri abantu be bonna ab’ensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, n’okutuusa leero.
11 你又在我們列祖面前把海分開,使他們在海中行走乾地,將追趕他們的人拋在深海,如石頭拋在大水中;
Wayawula mu mazzi g’ennyanja n’ogalaza ebbali n’ebbali mu maaso gaabwe, ne bayita wakati mu y’oku lukalu, naye abaali babagoberera wabazaaya mu buziba, ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi.
12 並且白晝用雲柱引導他們,黑夜用火柱照亮他們當行的路。
Emisana wakulemberanga abantu bo n’empagi ey’ekire, era n’ekiro wabakulemberanga n’empagi ey’omuliro okubamulisiza ekkubo lye baali bateekwa okukwata.
13 你也降臨在西奈山,從天上與他們說話,賜給他們正直的典章、真實的律法、美好的條例與誡命,
“Wava mu ggulu, n’okka ku Lusozi Sinaayi n’oyogera gye bali. Wabawa ebiragiro eby’obwenkanya, n’amateeka ag’amazima, byonna nga birungi.
14 又使他們知道你的安息聖日,並藉你僕人摩西傳給他們誡命、條例、律法。
Wabamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu, era n’obawa ebiragiro n’amateeka ng’oyita mu muddu wo Musa.
15 從天上賜下糧食充他們的飢,從磐石使水流出解他們的渴,又吩咐他們進去得你起誓應許賜給他們的地。
Bwe baalumwa enjala wabawa emmere okuva mu ggulu, ne bwe baalumwa ennyonta n’obawa amazzi okuva mu lwazi; n’obagamba bagende balye ensi gye wabalayiririra.
16 「但我們的列祖行事狂傲,硬着頸項不聽從你的誡命;
“Naye bo bajjajjaffe ne beekulumbaza ne bakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera biragiro byo.
17 不肯順從,也不記念你在他們中間所行的奇事,竟硬着頸項,居心背逆,自立首領,要回他們為奴之地。但你是樂意饒恕人,有恩典,有憐憫,不輕易發怒,有豐盛慈愛的上帝,並不丟棄他們。
Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka.
18 他們雖然鑄了一隻牛犢,彼此說『這是領你出埃及的神』,因而大大惹動你的怒氣;
Ne bwe beebumbira ennyana ensanuuse ne boogera nti, ‘Ono ye katonda wammwe eyabaggya mu Misiri,’ ne bakola n’ebitasaana bingi, mu kusaasira kwo okungi tewabaleka mu ddungu.
19 你還是大施憐憫,在曠野不丟棄他們。白晝,雲柱不離開他們,仍引導他們行路;黑夜,火柱也不離開他們,仍照亮他們當行的路。
“Emisana, empagi ey’ekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi ey’omuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata.
20 你也賜下你良善的靈教訓他們;未嘗不賜嗎哪使他們糊口,並賜水解他們的渴。
Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe.
21 在曠野四十年,你養育他們,他們就一無所缺:衣服沒有穿破,腳也沒有腫。
Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.
22 並且你將列國之地照分賜給他們,他們就得了西宏之地、希實本王之地,和巴珊王噩之地。
“Wabawa obwakabaka n’amawanga, n’obawa na buli nsonda ey’ebyalo. Baalya ensi ya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.
23 你也使他們的子孫多如天上的星,帶他們到你所應許他們列祖進入得為業之地。
Wayaza abazzukulu baabwe ne baba bangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’obaleeta mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagirye.
24 這樣,他們進去得了那地,你在他們面前制伏那地的居民,就是迦南人;將迦南人和其君王,並那地的居民,都交在他們手裏,讓他們任意而待。
Bazzukulu baabwe baayingira ne balya ensi, ne bawangula Abakanani abaabeeranga mu nsi, n’obawaayo mu mikono gyabwe wamu ne bakabaka baabwe, n’abantu b’ensi zaabwe ne babakola nga bwe baagala.
25 他們得了堅固的城邑、肥美的地土、充滿各樣美物的房屋、鑿成的水井、葡萄園、橄欖園,並許多果木樹。他們就吃而得飽,身體肥胖,因你的大恩,心中快樂。
Baawamba ebibuga ebyaliko bbugwe n’ensi enjimu, ne batwala amayumba agaali gajudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, enzizi ezasimibwa edda, n’ennimiro ez’emizabbibu, n’ennimiro ez’emizeeyituuni, n’emiti egy’ebibala mingi nnyo. Baalya ne bakkuta era ne banyirira, n’okubasanyusa n’obasanyusanga olw’obulungi bwo.
26 「然而,他們不順從,竟背叛你,將你的律法丟在背後,殺害那勸他們歸向你的眾先知,大大惹動你的怒氣。
“Naye tebaakugondera, baakujeemera ne batagoberera mateeka go. Batta bannabbi bo, abaababuuliriranga okudda gy’oli; baakola ebitasaana.
27 所以你將他們交在敵人的手中,磨難他們。他們遭難的時候哀求你,你就從天上垂聽,照你的大憐憫賜給他們拯救者,救他們脫離敵人的手。
Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, n’obawulira okuva mu ggulu, n’olw’okusaasira kwo okungi ennyo n’obaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.
28 但他們得平安之後,又在你面前行惡,所以你丟棄他們在仇敵的手中,使仇敵轄制他們。然而他們轉回哀求你,你仍從天上垂聽,屢次照你的憐憫拯救他們,
“Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ng’obawulira okuva mu ggulu, n’obalokolanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kuli.
29 又警戒他們,要使他們歸服你的律法。他們卻行事狂傲,不聽從你的誡命,干犯你的典章(人若遵行就必因此活着),扭轉肩頭,硬着頸項,不肯聽從。
“Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba b’amalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bw’aba ng’abigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira.
30 但你多年寬容他們,又用你的靈藉眾先知勸戒他們,他們仍不聽從,所以你將他們交在列國之民的手中。
Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo n’abayigirizanga ng’ayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gw’abamawanga agabaliraanye.
31 然而你大發憐憫,不全然滅絕他們,也不丟棄他們;因為你是有恩典、有憐憫的上帝。
Naye olw’okusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda ow’ekisa era ajjudde okusaasira.
32 「我們的上帝啊,你是至大、至能、至可畏、守約施慈愛的上帝。我們的君王、首領、祭司、先知、列祖,和你的眾民,從亞述列王的時候直到今日所遭遇的苦難,現在求你不要以為小。
“Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu ow’ekitiibwa, Katonda ow’entiisa, akuuma endagaano ye ey’okwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebya bakabaka b’e Bwasuli n’okutuusa leero.
33 在一切臨到我們的事上,你卻是公義的;因你所行的是誠實,我們所做的是邪惡。
Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere.
34 我們的君王、首領、祭司、列祖都不遵守你的律法,不聽從你的誡命和你警戒他們的話。
Bakabaka baffe, n’abakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga.
35 他們在本國裏沾你大恩的時候,在你所賜給他們這廣大肥美之地上不事奉你,也不轉離他們的惡行。
Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.
36 我們現今作了奴僕;至於你所賜給我們列祖享受其上的土產,並美物之地,看哪,我們在這地上作了奴僕!
“Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta.
37 這地許多出產歸了列王,就是你因我們的罪所派轄制我們的。他們任意轄制我們的身體和牲畜,我們遭了大難。」
Olw’ebibi byaffe, ebikungulwa eby’ensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga n’ente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”
38 因這一切的事,我們立確實的約,寫在冊上。我們的首領、利未人,和祭司都簽了名。
“Olw’ebyo byonna, tukola naawe endagaano ey’enkalakkalira, ne tugiteeka mu buwandiike; abakulembeze baffe, n’Abaleevi baffe, ne bakabona baffe ne bagissaako omukono n’envumbo zaabwe.”