< 尼希米記 6 >

1 參巴拉、多比雅、阿拉伯人基善和我們其餘的仇敵聽見我已經修完了城牆,其中沒有破裂之處(那時我還沒有安門扇)的,
Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango,
2 參巴拉和基善就打發人來見我,說:「請你來,我們在阿挪平原的一個村莊相會。」他們卻想害我。
Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, “Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono.” Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi.
3 於是我差遣人去見他們,說:「我現在辦理大工,不能下去。焉能停工下去見你們呢?」
Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, “Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?”
4 他們這樣四次打發人來見我,我都如此回答他們。
Ne baweereza obubaka bwe bumu emirundi ena, buli mulundi ne mbaddangamu mu ngeri y’emu.
5 參巴拉第五次打發僕人來見我,手裏拿着未封的信,
Awo Sanubalaati n’antumira omuddu we omulundi ogwokutaano n’ebbaluwa etaali nsibe mu mukono gwe,
6 信上寫着說:「外邦人中有風聲,迦施慕也說,你和猶大人謀反,修造城牆,你要作他們的王;
ng’erimu ebigambo bino nti, “Tuwulidde mu mawanga, era ne Gesemu akirinako obukakafu, nga ggwe n’Abayudaaya, mweteeseteese okujeema era kyemuvudde muzimba bbugwe, era n’olugambo luyitayita nga ggwe olina enteekateeka ey’okufuuka kabaka waabwe.
7 你又派先知在耶路撒冷指着你宣講,說在猶大有王。現在這話必傳與王知;所以請你來,與我們彼此商議。」
Kigambibwa nga walonda bannabbi mu Yerusaalemi okukulangiririra nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Noolwekyo obubaka obwo nga tebunatwalibwa eri kabaka, jjangu tukkiriziganye ku nsonga eyo.”
8 我就差遣人去見他,說:「你所說的這事,一概沒有,是你心裏捏造的。」
Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”
9 他們都要使我們懼怕,意思說,他們的手必軟弱,以致工作不能成就。上帝啊,求你堅固我的手。
Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”
10 我到了米希大別的孫子、第來雅的兒子示瑪雅家裏;那時,他閉門不出。他說:「我們不如在上帝的殿裏會面,將殿門關鎖;因為他們要來殺你,就是夜裏來殺你。」
Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”
11 我說:「像我這樣的人豈要逃跑呢?像我這樣的人豈能進入殿裏保全生命呢?我不進去!」
Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.”
12 我看明上帝沒有差遣他,是他自己說這話攻擊我,是多比雅和參巴拉賄買了他。
Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira.
13 賄買他的緣故,是要叫我懼怕,依從他犯罪,他們好傳揚惡言毀謗我。
Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.
14 我的上帝啊,多比雅、參巴拉、女先知挪亞底,和其餘的先知要叫我懼怕,求你記念他們所行的這些事。
Ayi Katonda wange ojjukire Tobiya ne Sanubalaati olw’ebikolwa ebyo, era ojjukire ne Nowadiya nnabbi omukazi ne bannabbi abalala abaagezaako okuntiisatiisa.
15 以祿月二十五日,城牆修完了,共修了五十二天。
Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.
16 我們一切仇敵、四圍的外邦人聽見了便懼怕,愁眉不展;因為見這工作完成是出乎我們的上帝。
Abalabe baffe bonna bwe baakiwulira, amawanga gonna agaali gatwetoolodde ne bamulaba, ne batya era ne baggwaamu omwoyo, kubanga baalaba ng’omulimu gwakolebwa olw’okubeerwa kwa Katonda waffe.
17 在那些日子,猶大的貴冑屢次寄信與多比雅,多比雅也來信與他們。
Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu.
18 在猶大有許多人與多比雅結盟;因他是亞拉的兒子,示迦尼的女婿,並且他的兒子約哈難娶了比利迦兒子米書蘭的女兒為妻。
Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
19 他們常在我面前說多比雅的善行,也將我的話傳與他。多比雅又常寄信來,要叫我懼怕。
Baamuwaanawaananga mu maaso gange, n’oluvannyuma ne bamutegeeza bye nayogeranga. Tobiya n’aweerezanga ebbaluwa okuntiisatiisa.

< 尼希米記 6 >