< 利未記 11 >

1 耶和華對摩西、亞倫說:
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 「你們曉諭以色列人說,在地上一切走獸中可吃的乃是這些:
“Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi.
3 凡蹄分兩瓣、倒嚼的走獸,你們都可以吃。
Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu.
4 但那倒嚼或分蹄之中不可吃的乃是:駱駝-因為倒嚼不分蹄,就與你們不潔淨;
Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu.
5 沙番-因為倒嚼不分蹄,就與你們不潔淨;
N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu.
6 觠子-因為倒嚼不分蹄,就與你們不潔淨;
Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga.
7 豬-因為蹄分兩瓣,卻不倒嚼,就與你們不潔淨。
Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli.
8 這些獸的肉,你們不可吃;死的,你們不可摸,都與你們不潔淨。
Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli.
9 「水中可吃的乃是這些:凡在水裏、海裏、河裏、有翅有鱗的,都可以吃。
“Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo.
10 凡在海裏、河裏,並一切水裏游動的活物,無翅無鱗的,你們都當以為可憎。
Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli.
11 這些無翅無鱗、以為可憎的,你們不可吃牠的肉;死的也當以為可憎。
Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo.
12 凡水裏無翅無鱗的,你們都當以為可憎。
Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli.
13 「雀鳥中你們當以為可憎、不可吃的乃是:鵰、狗頭鵰、紅頭鵰、
“Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi,
14 鷂鷹、小鷹與其類;
kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri,
15 烏鴉與其類;
ne namuŋŋoona owa buli ngeri;
16 鴕鳥、夜鷹、魚鷹、鷹與其類;
maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri,
17 鴞鳥、鸕鶿、貓頭鷹、
ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu,
18 角鴟、鵜鶘、禿鵰、
ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega,
19 鸛、鷺鷥與其類;戴鵀與蝙蝠。
kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira.
20 「凡有翅膀用四足爬行的物,你們都當以為可憎。
“Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
21 只是有翅膀用四足爬行的物中,有足有腿,在地上蹦跳的,你們還可以吃。
Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka.
22 其中有蝗蟲、螞蚱、蟋蟀與其類;蚱蜢與其類;這些你們都可以吃。
Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri.
23 但是有翅膀有四足的爬物,你們都當以為可憎。
Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
24 「這些都能使你們不潔淨。凡摸了死的,必不潔淨到晚上。
“Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
25 凡拿了死的,必不潔淨到晚上,並要洗衣服。
Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 凡走獸分蹄不成兩瓣、也不倒嚼的,是與你們不潔淨;凡摸了的就不潔淨。
“Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu.
27 凡四足的走獸,用掌行走的,是與你們不潔淨;摸其屍的,必不潔淨到晚上。
Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 拿其屍的,必不潔淨到晚上,並要洗衣服。這些是與你們不潔淨的。
Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.
29 「地上爬物與你們不潔淨的乃是這些:鼬鼠、鼫鼠、蜥蜴與其類;
“Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri;
30 壁虎、龍子、守宮、蛇醫、蝘蜓。
anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu.
31 這些爬物都是與你們不潔淨的。在牠死了以後,凡摸了的,必不潔淨到晚上。
Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32 其中死了的,掉在甚麼東西上,這東西就不潔淨,無論是木器、衣服、皮子、口袋,不拘是做甚麼工用的器皿,須要放在水中,必不潔淨到晚上,到晚上才潔淨了。
Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga.
33 若有死了掉在瓦器裏的,其中不拘有甚麼,就不潔淨,你們要把這瓦器打破了。
Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga.
34 其中一切可吃的食物,沾水的就不潔淨,並且那樣器皿中一切可喝的,也必不潔淨。
Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu.
35 其中已死的,若有一點掉在甚麼物件上,那物件就不潔淨,不拘是爐子,是鍋臺,就要打碎,都不潔淨,也必與你們不潔淨。
Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli.
36 但是泉源或是聚水的池子仍是潔淨;惟挨了那死的,就不潔淨。
Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu.
37 若是死的,有一點掉在要種的子粒上,子粒仍是潔淨;
Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu.
38 若水已經澆在子粒上,那死的有一點掉在上頭,這子粒就與你們不潔淨。
Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.
39 「你們可吃的走獸若是死了,有人摸牠,必不潔淨到晚上;
“Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40 有人吃那死了的走獸,必不潔淨到晚上,並要洗衣服;拿了死走獸的,必不潔淨到晚上,並要洗衣服。
Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41 「凡地上的爬物是可憎的,都不可吃。
“Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga.
42 凡用肚子行走的和用四足行走的,或是有許多足的,就是一切爬在地上的,你們都不可吃,因為是可憎的。
Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo.
43 你們不可因甚麼爬物使自己成為可憎的,也不可因這些使自己不潔淨,以致染了污穢。
Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu.
44 我是耶和華-你們的上帝;所以你們要成為聖潔,因為我是聖潔的。你們也不可在地上的爬物污穢自己。
Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu.
45 我是把你們從埃及地領出來的耶和華,要作你們的上帝;所以你們要聖潔,因為我是聖潔的。」
Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu.
46 這是走獸、飛鳥,和水中游動的活物,並地上爬物的條例。
“Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka.
47 要把潔淨的和不潔淨的,可吃的與不可吃的活物,都分別出來。
Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.”

< 利未記 11 >