< 耶利米哀歌 2 >

1 主何竟發怒,使黑雲遮蔽錫安城! 他將以色列的華美從天扔在地上; 在他發怒的日子並不記念自己的腳凳。
Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni ne bumussa wansi w’ekire! Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi okuva mu ggulu okutuuka ku nsi; ne yeerabira entebe ey’ebigere bye ku lunaku lwe yasunguwalirako.
2 主吞滅雅各一切的住處,並不顧惜。 他發怒傾覆猶大民的保障, 使這保障坍倒在地; 他辱沒這國和其中的首領。
Mukama azikirizza abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira; mu busungu bwe amenye ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda; assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be n’abamalamu ekitiibwa.
3 他發烈怒,把以色列的角全然砍斷, 在仇敵面前收回右手。 他像火焰四圍吞滅,將雅各燒毀。
Mu busungu obungi amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza; bw’alabye omulabe ng’asembera, n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo; anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
4 他張弓好像仇敵; 他站着舉起右手, 如同敵人將悅人眼目的,盡行殺戮。 在錫安百姓的帳棚上 倒出他的忿怒,像火一樣。
Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe, era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu. Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso mu weema ey’omuwala wa Sayuuni, okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze; obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
5 主如仇敵吞滅以色列和錫安的一切宮殿, 拆毀百姓的保障; 在猶大民中加增悲傷哭號。
Mukama afuuse ng’omulabe; azikirizza Isirayiri, n’azikiriza embiri ze, n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi. Aleetedde muwala wa Yuda okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
6 他強取自己的帳幕,好像是園中的窩棚, 毀壞他的聚會之處。 耶和華使聖節和安息日在錫安都被忘記, 又在怒氣的憤恨中藐視君王和祭司。
Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro, era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu. Mukama yeerabizza Sayuuni embaga ze entukuvu ne ssabbiiti, era mu busungu bwe obungi anyoomye kabaka ne kabona.
7 耶和華丟棄自己的祭壇, 憎惡自己的聖所, 將宮殿的牆垣交付仇敵。 他們在耶和華的殿中喧嚷, 像在聖會之日一樣。
Mukama atamiddwa ekyoto kye, n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu. Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe; era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama, ne baleetamu oluyoogaano nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
8 耶和華定意拆毀錫安的城牆; 他拉了準繩, 不將手收回,定要毀滅。 他使外郭和城牆都悲哀, 一同衰敗。
Mukama yamalirira okumenya bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni, n’agolola omuguwa ogupima, Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza. Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga, byonna ne biggweerera.
9 錫安的門都陷入地內; 主將她的門閂毀壞,折斷。 她的君王和首領落在沒有律法的列國中; 她的先知不得見耶和華的異象。
Emiryango gye gisse mu ttaka, n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona. Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa, eteri mateeka gaabwe agabafuga, era ne bannabbi be tebakyafuna kwolesebwa kuva eri Mukama.
10 錫安城的長老坐在地上默默無聲; 他們揚起塵土落在頭上,腰束麻布; 耶路撒冷的處女垂頭至地。
Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde; bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe era beesibye ebibukutu; n’abawala ba Yerusaalemi bakotese emitwe gyabwe.
11 我眼中流淚,以致失明; 我的心腸擾亂,肝膽塗地, 都因我眾民遭毀滅, 又因孩童和吃奶的在城內街上發昏。
Amaaso gange gakooye olw’okukaaba n’emmeeme yange enyiikadde n’omutima gwange gulumwa olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange, n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12 那時,他們在城內街上發昏,好像受傷的, 在母親的懷裏,將要喪命; 對母親說:穀、酒在哪裏呢?
Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti, “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?” nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu mu nguudo ez’ekibuga, nga bwe bakaabira mu bifuba bya bannyaabwe.
13 耶路撒冷的民哪,我可用甚麼向你證明呢? 我可用甚麼與你相比呢? 錫安的民哪,我可拿甚麼和你比較,好安慰你呢? 因為你的裂口大如海, 誰能醫治你呢?
Nnyinza kugamba ki, era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako ggwe Omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnyinza okukufaananya, okukusanyusa ggwe Omuwala Embeerera owa Sayuuni? Ekiwundu kyo kinene nnyo, kale ani ayinza okukiwonya?
14 你的先知為你見虛假和愚昧的異象, 並沒有顯露你的罪孽, 使你被擄的歸回; 卻為你見虛假的默示 和使你被趕出本境的緣故。
Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna, kwali kwa bulimba era kwa butaliimu; tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo okukuwonya obusibe. Engero ze baabanyumizanga zaali za bulimba era eziwabya.
15 凡過路的都向你拍掌。 他們向耶路撒冷城嗤笑,搖頭,說: 難道人所稱為全美的, 稱為全地所喜悅的,就是這城嗎?
Bonna abayitawo babakubira mu ngalo ne bafuuwa empa ne banyeenyeza omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti, “Kino kye kibuga ekyayitibwanga ekituukiridde, era essanyu ly’ensi zonna?”
16 你的仇敵都向你大大張口; 他們嗤笑,又切齒說: 我們吞滅她。 這真是我們所盼望的日子臨到了! 我們親眼看見了!
Abalabe bo bonna baasaamiridde nga beewuunya; nga bafuuwa empa, era baluma amannyo nga boogera nti, “Tumuzikirizza. Luno lwe lunaku lwe twalindirira, kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 耶和華成就了他所定的, 應驗了他古時所命定的。 他傾覆了,並不顧惜, 使你的仇敵向你誇耀; 使你敵人的角也被高舉。
Mukama akoze kye yateekateeka, era atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez’edda. Akuzikirizza awatali kukusaasira, aleetedde omulabe wo okukusekerera, n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18 錫安民的心哀求主。 錫安的城牆啊,願你流淚如河, 晝夜不息; 願你眼中的瞳人淚流不止。
Kaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe Omuwala wa Sayuuni. Leka amaziga go gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro. Teweewummuza so toganya maaso go kuwummula.
19 夜間,每逢交更的時候要起來呼喊, 在主面前傾心如水。 你的孩童在各市口上受餓發昏; 你要為他們的性命向主舉手禱告。
Golokoka, okaabe ekiro obudde nga bwa kaziba; Fuka emmeeme yo ng’amazzi mu maaso ga Mukama. Yimusa emikono gyo gy’ali, olw’obulamu bw’abaana bo abato abazirise olw’enjala mu buli luguudo.
20 耶和華啊,求你觀看! 見你向誰這樣行? 婦人豈可吃自己所生育手裏所搖弄的嬰孩嗎? 祭司和先知豈可在主的聖所中被殺戮嗎?
“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire! Ani gwe wali obonerezza bw’otyo? Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe, abaana be bakuzizza? Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe mu watukuvu wa Mukama?
21 少年人和老年人都在街上躺臥; 我的處女和壯丁都倒在刀下; 你發怒的日子殺死他們。 你殺了,並不顧惜。
“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu mu nfuufu ey’enguudo; abavubuka bange ne bawala bange battiddwa n’ekitala; obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo, era obasse awatali kusaasira.
22 你招聚四圍驚嚇我的, 像在大會的日子招聚人一樣。 耶和華發怒的日子, 無人逃脫,無人存留。 我所搖弄所養育的嬰孩, 仇敵都殺淨了。
“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga, bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna; era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama, tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo; abo be nalabirira ne nkuza, omulabe wange be yazikiriza.”

< 耶利米哀歌 2 >