< 士師記 7 >
1 耶路‧巴力就是基甸,他和一切跟隨的人早晨起來,在哈律泉旁安營。米甸營在他們北邊的平原,靠近摩利岡。
Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole.
2 耶和華對基甸說:「跟隨你的人過多,我不能將米甸人交在他們手中,免得以色列人向我誇大,說:『是我們自己的手救了我們。』
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza.
3 現在你要向這些人宣告說:『凡懼怕膽怯的,可以離開基列山回去。』」於是有二萬二千人回去,只剩下一萬。
Noolwekyo kaakano genda olangirire eri abalwanyi bo nti, ‘Buli mutiitiizi yenna n’oyo akankana, ave ku lusozi luno Gireyaadi addeyo ewuwe.’” Abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo omutwalo gumu.
4 耶和華對基甸說:「人還是過多;你要帶他們下到水旁,我好在那裏為你試試他們。我指點誰說:『這人可以同你去』,他就可以同你去;我指點誰說:『這人不可同你去』,他就不可同你去。」
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”
5 基甸就帶他們下到水旁。耶和華對基甸說:「凡用舌頭舔水,像狗舔的,要使他單站在一處;凡跪下喝水的,也要使他單站在一處。」
Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa.
6 於是用手捧着舔水的有三百人,其餘的都跪下喝水。
Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
7 耶和華對基甸說:「我要用這舔水的三百人拯救你們,將米甸人交在你手中;其餘的人都可以各歸各處去。」
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe n’obuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ng’embwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.”
8 這三百人就帶着食物和角;其餘的以色列人,基甸都打發他們各歸各的帳棚,只留下這三百人。米甸營在他下邊的平原裏。
Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe. Olusiisira lw’Abamidiyaani lwamuli kyemmanga mu kiwonvu.
9 當那夜,耶和華吩咐基甸說:「起來,下到米甸營裏去,因我已將他們交在你手中。
Ekiro ekyo Mukama Katonda n’amulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo.
10 倘若你怕下去,就帶你的僕人普拉下到那營裏去。
Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo:
11 你必聽見他們所說的,然後你就有膽量下去攻營。」於是基甸帶着僕人普拉下到營旁。
era bw’onoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni n’omuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lw’Abamidiyaani.”
12 米甸人、亞瑪力人,和一切東方人都布散在平原,如同蝗蟲那樣多。他們的駱駝無數,多如海邊的沙。
Abamidiyaani, Abamaleki n’Abamawanga amalala ag’ebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ng’enzige; era n’eŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ng’empeke z’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.
13 基甸到了,就聽見一人將夢告訴同伴說:「我做了一夢,夢見一個大麥餅滾入米甸營中,到了帳幕,將帳幕撞倒,帳幕就翻轉傾覆了。」
Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.”
14 那同伴說:「這不是別的,乃是以色列人約阿施的兒子基甸的刀;上帝已將米甸和全軍都交在他的手中。」
Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”
15 基甸聽見這夢和夢的講解,就敬拜上帝,回到以色列營中,說:「起來吧!耶和華已將米甸的軍隊交在你們手中了。」
Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.”
16 於是基甸將三百人分作三隊,把角和空瓶交在各人手裏(瓶內都藏着火把),
Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.
17 吩咐他們說:「你們要看我行事:我到了營的旁邊怎樣行,你們也要怎樣行。
N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola.
18 我和一切跟隨我的人吹角的時候,你們也要在營的四圍吹角,喊叫說:『耶和華和基甸的刀!』」
Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’”
19 基甸和跟隨他的一百人,在三更之初才換更的時候,來到營旁,就吹角,打破手中的瓶。
Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja ky’abakuumi, Gidyoni n’abalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa n’ensuwa ze baali bakutte.
20 三隊的人就都吹角,打破瓶子,左手拿着火把,右手拿着角,喊叫說:「耶和華和基甸的刀!」
Ebibinja ebirala nabo ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe, ne bakwata ebitawuliro mu mikono gyabwe egya kkono, n’amakondeere mu mikono gyabwe egya ddyo, ne bafuuwa nga bwe baleekaanira waggulu nti, “Ekitala kya Mukama Katonda era n’ekya Gidyoni.”
21 他們在營的四圍各站各的地方;全營的人都亂竄。三百人吶喊,使他們逃跑。
Buli mulwanyi n’ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira: eggye lyonna ery’Abamidiyaani ne bafubutuka nga bwe baleekaanira waggulu.
22 三百人就吹角,耶和華使全營的人用刀互相擊殺,逃到西利拉的伯‧哈示他,直逃到靠近他巴的亞伯‧米何拉。
Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi.
23 以色列人就從拿弗他利、亞設,和瑪拿西全地聚集來追趕米甸人。
Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Aseri n’ekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani.
24 基甸打發人走遍以法蓮山地,說:「你們下來攻擊米甸人,爭先把守約旦河的渡口,直到伯‧巴拉。」於是以法蓮的眾人聚集,把守約旦河的渡口,直到伯‧巴拉,
Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.” Awo abalwanyi bonna ab’omu kika kya Efulayimu ne bakoowoolwa, ne bawamba omugga Yoludaani n’enzizi zonna okutuukira ddala e Besubata.
25 捉住了米甸人的兩個首領:一名俄立,一名西伊伯;將俄立殺在俄立磐石上,將西伊伯殺在西伊伯酒醡那裏;又追趕米甸人,將俄立和西伊伯的首級帶過約旦河,到基甸那裏。
Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.