< 約書亞記 7 >
1 以色列人在當滅的物上犯了罪;因為猶大支派中,謝拉的曾孫,撒底的孫子,迦米的兒子亞干取了當滅的物;耶和華的怒氣就向以色列人發作。
Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.
2 當下,約書亞從耶利哥打發人往伯特利東邊、靠近伯‧亞文的艾城去,吩咐他們說:「你們上去窺探那地。」他們就上去窺探艾城。
Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
3 他們回到約書亞那裏,對他說:「眾民不必都上去,只要二三千人上去就能攻取艾城;不必勞累眾民都去,因為那裏的人少。」
Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.”
4 於是民中約有三千人上那裏去,竟在艾城人面前逃跑了。
Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde
5 艾城的人擊殺了他們三十六人,從城門前追趕他們,直到示巴琳,在下坡殺敗他們;眾民的心就消化如水。
okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
6 約書亞便撕裂衣服;他和以色列的長老把灰撒在頭上,在耶和華的約櫃前俯伏在地,直到晚上。
Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde.
7 約書亞說:「哀哉!主耶和華啊,你為甚麼竟領這百姓過約旦河,將我們交在亞摩利人的手中,使我們滅亡呢?我們不如住在約旦河那邊倒好。
Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono!
8 主啊,以色列人既在仇敵面前轉背逃跑,我還有甚麼可說的呢?
Ayi Mukama, sonyiwa omuddu wo. Isirayiri alumbiddwa abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano!
9 迦南人和這地一切的居民聽見了就必圍困我們,將我們的名從地上除滅。那時你為你的大名要怎樣行呢?」
Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”
10 耶和華吩咐約書亞說:「起來!你為何這樣俯伏在地呢?
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka?
11 以色列人犯了罪,違背了我所吩咐他們的約,取了當滅的物;又偷竊,又行詭詐,又把那當滅的放在他們的家具裏。
Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba.
12 因此,以色列人在仇敵面前站立不住。他們在仇敵面前轉背逃跑,是因成了被咒詛的;你們若不把當滅的物從你們中間除掉,我就不再與你們同在了。
Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
13 你起來,叫百姓自潔,對他們說:『你們要自潔,預備明天,因為耶和華-以色列的上帝這樣說:以色列啊,你們中間有當滅的物,你們若不除掉,在仇敵面前必站立不住!』
“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.
14 到了早晨,你們要按着支派近前來;耶和華所取的支派,要按着宗族近前來;耶和華所取的宗族,要按着家室近前來;耶和華所取的家室,要按着人丁,一個一個地近前來。
“‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu.
15 被取的人有當滅的物在他那裏,他和他所有的必被火焚燒;因他違背了耶和華的約,又因他在以色列中行了愚妄的事。」
Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya Mukama n’avumaganya Isirayiri.’”
16 於是,約書亞清早起來,使以色列人按着支派近前來,取出來的是猶大支派;
Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda:
17 使猶大支派近前來,就取了謝拉的宗族;使謝拉的宗族,按着家室人丁,一個一個地近前來,取出來的是撒底;
n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye:
18 使撒底的家室,按着人丁,一個一個地近前來,就取出猶大支派的人謝拉的曾孫,撒底的孫子,迦米的兒子亞干。
ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.
19 約書亞對亞干說:「我兒,我勸你將榮耀歸給耶和華-以色列的上帝,在他面前認罪,將你所做的事告訴我,不要向我隱瞞。」
Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.”
20 亞干回答約書亞說:「我實在得罪了耶和華-以色列的上帝。我所做的事如此如此:
Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri Mukama Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola.
21 我在所奪的財物中看見一件美好的示拿衣服,二百舍客勒銀子,一條金子重五十舍客勒,我就貪愛這些物件,便拿去了。現今藏在我帳棚內的地裏,銀子在衣服底下。」
Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”
22 約書亞就打發人跑到亞干的帳棚裏。那件衣服果然藏在他帳棚內,銀子在底下。
Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka.
23 他們就從帳棚裏取出來,拿到約書亞和以色列眾人那裏,放在耶和華面前。
Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.
24 約書亞和以色列眾人把謝拉的曾孫亞干和那銀子、那件衣服、那條金子,並亞干的兒女、牛、驢、羊、帳棚,以及他所有的,都帶到亞割谷去。
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.
25 約書亞說:「你為甚麼連累我們呢?今日耶和華必叫你受連累。」於是以色列眾人用石頭打死他,將石頭扔在其上,又用火焚燒他所有的。
Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba Mukama ky’anaakukola.” Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro.
26 眾人在亞干身上堆成一大堆石頭,直存到今日。於是耶和華轉意,不發他的烈怒。因此那地方名叫亞割谷,直到今日。
Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.