< 約書亞記 22 >

1 當時,約書亞召了呂便人、迦得人,和瑪拿西半支派的人來,
Awo Yoswa n’ayita Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase,
2 對他們說:「耶和華僕人摩西所吩咐你們的,你們都遵守了;我所吩咐你們的,你們也都聽從了。
n’abagamba nti, “Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira.
3 你們這許多日子,總沒有撇離你們的弟兄,直到今日,並守了耶和華-你們上帝所吩咐你們當守的。
Ebbanga lyonna n’okutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe.
4 如今耶和華-你們上帝照着他所應許的,使你們弟兄得享平安,現在可以轉回你們的帳棚,到耶和華的僕人摩西在約旦河東所賜你們為業之地。
Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani.
5 只要切切地謹慎遵行耶和華僕人摩西所吩咐你們的誡命律法,愛耶和華-你們的上帝,行他一切的道,守他的誡命,專靠他,盡心盡性事奉他。」
Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.”
6 於是約書亞為他們祝福,打發他們去,他們就回自己的帳棚去了。
Yoswa n’alyoka abasabira omukisa n’abasiibula ne baddayo mu maka gaabwe.
7 瑪拿西那半支派,摩西早已在巴珊分給他們地業。這半支派,約書亞在約旦河西,在他們弟兄中,分給他們地業。約書亞打發他們回帳棚的時候為他們祝福,
Ekitundu ekimu eky’ekika kya Manase, Musa yali akigabidde ettaka mu Basani, n’ekitundu ekirala eky’ekika kya Manase ne baganda baabwe, Yoswa n’akiwa ettaka ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani. Yoswa n’abawa omukisa n’abasiibula baddeyo ewaabwe.
8 對他們說:「你們帶許多財物,許多牲畜和金、銀、銅、鐵,並許多衣服,回你們的帳棚去,要將你們從仇敵奪來的物,與你們眾弟兄同分。」
N’abagamba nti, “Ente nnyingi, ne ffeeza, ne zaabu, n’ekikomo, n’ekyuma, era n’engoye nnyingi bye munyaze ku balabe bammwe; mubigabaane ne baganda bammwe.”
9 於是呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人從迦南地的示羅起行,離開以色列人,回往他們得為業的基列地,就是照耶和華藉摩西所吩咐的得了為業之地。
Awo Abalewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga bava mu baana ba Isirayiri mu Siiro ekiri mu nsi ya Kanani ne baddayo mu nsi yaabwe, mu Gireyaadi, gye baali bagabanye bo bennyini ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali okuyita mu Musa.
10 呂便人、迦得人,和瑪拿西半支派的人到了靠近約旦河的一帶迦南地,就在約旦河那裏築了一座壇;那壇看着高大。
Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala.
11 以色列人聽說呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人靠近約旦河邊,在迦南地屬以色列人的那邊築了一座壇。
Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri,
12 全會眾一聽見,就聚集在示羅,要上去攻打他們。
ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bakuŋŋaana e Siiro beetegekere olutalo babalumbe.
13 以色列人打發祭司以利亞撒的兒子非尼哈,往基列地去見呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人;
Awo abaana ba Isirayiri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu nsi ya Gireyaadi.
14 又打發十個首領與非尼哈同去,就是以色列每支派的一個首領,都是以色列軍中的統領。
Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu w’ennyumba mu buli kika kya Isirayiri.
15 他們到了基列地,見呂便人、迦得人,和瑪拿西半支派的人,對他們說:
Bwe bajja eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti,
16 「耶和華全會眾這樣說,你們今日轉去不跟從耶和華,干犯以色列的上帝,為自己築一座壇,悖逆了耶和華,這犯的是甚麼罪呢?
“Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo?
17 從前拜毗珥的罪孽還算小嗎?雖然瘟疫臨到耶和華的會眾,到今日我們還沒有洗淨這罪。
Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda,
18 你們今日竟轉去不跟從耶和華嗎?你們今日既悖逆耶和華,明日他必向以色列全會眾發怒。
ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? “‘Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri.
19 你們所得為業之地,若嫌不潔淨,就可以過到耶和華之地,就是耶和華的帳幕所住之地,在我們中間得地業。只是不可悖逆耶和華,也不可得罪我們,在耶和華-我們上帝的壇以外為自己築壇。
Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli; kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe.
20 從前謝拉的曾孫亞干豈不是在那當滅的物上犯了罪,就有忿怒臨到以色列全會眾嗎?那人在所犯的罪中不獨一人死亡。」
Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.’”
21 於是呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人回答以色列軍中的統領說:
Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne balyoka baddamu abakulu b’ebika bya Isirayiri nti,
22 「大能者上帝耶和華!大能者上帝耶和華!他是知道的!以色列人也必知道!我們若有悖逆的意思,或是干犯耶和華(願你今日不保佑我們),
“Mukama Katonda ow’Amaanyi, Mukama ow’Amaanyi! Ye amanyi, era Isirayiri akimanye! Bwe kiba nga kyabadde mu kwediima oba kujeemera Mukama, temutusonyiwa leero.
23 為自己築壇,要轉去不跟從耶和華,或是要將燔祭、素祭、平安祭獻在壇上,願耶和華親自討我們的罪。
Bwe tuba nga ekyatuzimbya ekyoto kwe kuva ku Mukama, tukiweereko ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo ekyobutta oba ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, Mukama Katonda yennyini atuvunaane.
24 我們行這事並非無故,是特意做的,說:恐怕日後你們的子孫對我們的子孫說:『你們與耶和華-以色列的上帝有何關涉呢?
Nedda, twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki?
25 因為耶和華把約旦河定為我們和你們這呂便人、迦得人的交界,你們與耶和華無分了。』這樣,你們的子孫就使我們的子孫不再敬畏耶和華了。
Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.
26 因此我們說:『不如為自己築一座壇,不是為獻燔祭,也不是為獻別的祭,
“Kyetwava tugamba nti, ‘Leka tuzimbe kaakano ekyoto ekitali kya kukozesa ku biweebwayo ebyokebwa, wadde ssaddaaka,’
27 乃是為你我中間和你我後人中間作證據,好叫我們也在耶和華面前獻燔祭、平安祭,和別的祭事奉他,免得你們的子孫日後對我們的子孫說,你們與耶和華無分了。』
naye kibeere akabonero ak’obujulizi wakati waffe nammwe, era ne wakati we mirembe egirituddirira nti tugenda mu maaso ga Mukama Katonda ne tumusinza n’ebiweebwayo byaffe ebyokebwa ne ssaddaaka era n’ebiweebwayo olw’emirembe si kulwa nga abaana bammwe bagamba abaana baffe mu biseera ebijja nti, ‘Temulina mugabo gwonna eri Mukama Katonda.’
28 所以我們說:『日後你們對我們,或對我們的後人這樣說,我們就可以回答說,你們看我們列祖所築的壇是耶和華壇的樣式;這並不是為獻燔祭,也不是為獻別的祭,乃是為作你我中間的證據。』
Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.”’
29 我們在耶和華-我們上帝帳幕前的壇以外,另築一座壇,為獻燔祭、素祭,和別的祭,悖逆耶和華,今日轉去不跟從他,我們斷沒有這個意思。」
Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby’empeke, oba ssaddaaka, ekitali kyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso ga Ssanduuko y’Endagaano ye!”
30 祭司非尼哈與會中的首領,就是與他同來以色列軍中的統領,聽見呂便人、迦得人、瑪拿西人所說的話,就都以為美。
Finekaasi kabona, n’abakulu b’ebibiina by’ebika bya Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo Abalewubeeni, n’Abagaadi n’aba Manase bye bayogera, ne bibasanyusa nnyo.
31 祭司以利亞撒的兒子非尼哈對呂便人、迦得人、瑪拿西人說:「今日我們知道耶和華在我們中間,因為你們沒有向他犯了這罪。現在你們救以色列人脫離耶和華的手了。」
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’abaana ba Manase nti, “Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda.”
32 祭司以利亞撒的兒子非尼哈與眾首領離了呂便人、迦得人,從基列地回往迦南地,到了以色列人那裏,便將這事回報他們。
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’abakulu b’ebika ne bava eri Abalewubeeni, n’Abagaadi mu nsi ye Kanani, ne baddayo eri abantu ba Isirayiri ne bababuulira ebibaddeyo.
33 以色列人以這事為美,就稱頌上帝,不再提上去攻打呂便人、迦得人、毀壞他們所住的地了。
Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza Katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi Abalewubeeni, n’Abagaadi gye baali basenze.
34 呂便人、迦得人給壇起名叫證壇,意思說:這壇在我們中間證明耶和華是上帝。
Abalewubeeni n’Abagaadi ne batuuma ekyoto erinnya Mujulizi, ne bagamba nti, “Kubanga mujulizi eri ffe nti Mukama ye Katonda.”

< 約書亞記 22 >