< 約翰福音 4 >

1 主知道法利賽人聽見他收門徒,施洗,比約翰還多,(
Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana,
2 其實不是耶穌親自施洗,乃是他的門徒施洗,)
newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga,
3 他就離了猶太,又往加利利去。
n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.
4 必須經過撒馬利亞,
Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya.
5 於是到了撒馬利亞的一座城,名叫敘加,靠近雅各給他兒子約瑟的那塊地。
Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu.
6 在那裏有雅各井;耶穌因走路困乏,就坐在井旁。那時約有午正。
Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
7 有一個撒馬利亞的婦人來打水。耶穌對她說:「請你給我水喝。」(
Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.”
8 那時門徒進城買食物去了。)
Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere.
9 撒馬利亞的婦人對他說:「你既是猶太人,怎麼向我一個撒馬利亞婦人要水喝呢?」原來猶太人和撒馬利亞人沒有來往。
Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya.
10 耶穌回答說:「你若知道上帝的恩賜,和對你說『給我水喝』的是誰,你必早求他,他也必早給了你活水。」
Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
11 婦人說:「先生,沒有打水的器具,井又深,你從哪裏得活水呢?
Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo.
12 我們的祖宗雅各將這井留給我們,他自己和兒子並牲畜也都喝這井裏的水,難道你比他還大嗎?」
Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
13 耶穌回答說:「凡喝這水的還要再渴;
Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma.
14 人若喝我所賜的水就永遠不渴。我所賜的水要在他裏頭成為泉源,直湧到永生。」 (aiōn g165, aiōnios g166)
Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.” (aiōn g165, aiōnios g166)
15 婦人說:「先生,請把這水賜給我,叫我不渴,也不用來這麼遠打水。」
Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”
16 耶穌說:「你去叫你丈夫也到這裏來。」
Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”
17 婦人說:「我沒有丈夫。」耶穌說:「你說沒有丈夫是不錯的。
Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!” Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo.
18 你已經有五個丈夫,你現在有的並不是你的丈夫。你這話是真的。」
Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”
19 婦人說:「先生,我看出你是先知。
Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi.
20 我們的祖宗在這山上禮拜,你們倒說,應當禮拜的地方是在耶路撒冷。」
Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
21 耶穌說:「婦人,你當信我。時候將到,你們拜父,也不在這山上,也不在耶路撒冷。
Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.
22 你們所拜的,你們不知道;我們所拜的,我們知道,因為救恩是從猶太人出來的。
Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.
23 時候將到,如今就是了,那真正拜父的,要用心靈和誠實拜他,因為父要這樣的人拜他。」
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.
24 上帝是個靈,所以拜他的必須用心靈和誠實拜他。」
Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
25 婦人說:「我知道彌賽亞(就是那稱為基督的)要來;他來了,必將一切的事都告訴我們。」
Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.”
26 耶穌說:「這和你說話的就是他!」
Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
27 當下門徒回來,就希奇耶穌和一個婦人說話;只是沒有人說:「你是要甚麼?」或說:「你為甚麼和她說話?」
Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako.
28 那婦人就留下水罐子,往城裏去,對眾人說:
Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti,
29 「你們來看!有一個人將我素來所行的一切事都給我說出來了,莫非這就是基督嗎?」
“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?”
30 眾人就出城,往耶穌那裏去。
Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.
31 這其間,門徒對耶穌說:「拉比,請吃。」
Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.”
32 耶穌說:「我有食物吃,是你們不知道的。」
N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”
33 門徒就彼此對問說:「莫非有人拿甚麼給他吃嗎?」
Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?”
34 耶穌說:「我的食物就是遵行差我來者的旨意,做成他的工。
Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.
35 你們豈不說『到收割的時候還有四個月』嗎?我告訴你們,舉目向田觀看,莊稼已經熟了,可以收割了。
Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse.
36 收割的人得工價,積蓄五穀到永生,叫撒種的和收割的一同快樂。 (aiōnios g166)
Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. (aiōnios g166)
37 俗語說:『那人撒種,這人收割』,這話可見是真的。
Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima.
38 我差你們去收你們所沒有勞苦的;別人勞苦,你們享受他們所勞苦的。」
Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”
39 那城裏有好些撒馬利亞人信了耶穌,因為那婦人作見證說:「他將我素來所行的一切事都給我說出來了。」
Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!”
40 於是撒馬利亞人來見耶穌,求他在他們那裏住下,他便在那裏住了兩天。
Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri.
41 因耶穌的話,信的人就更多了,
Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza.
42 便對婦人說:「現在我們信,不是因為你的話,是我們親自聽見了,知道這真是救世主。」
Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”
43 過了那兩天,耶穌離了那地方,往加利利去。
Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu n’ava e Samaliya n’alaga e Ggaliraaya.
44 因為耶穌自己作過見證說:「先知在本地是沒有人尊敬的。」
Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gy’asibuka.”
45 到了加利利,加利利人既然看見他在耶路撒冷過節所行的一切事,就接待他,因為他們也是上去過節。
Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.
46 耶穌又到了加利利的迦拿,就是他從前變水為酒的地方。有一個大臣,他的兒子在迦百農患病。
Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde.
47 他聽見耶穌從猶太到了加利利,就來見他,求他下去醫治他的兒子,因為他兒子快要死了。
Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 耶穌就對他說:「若不看見神蹟奇事,你們總是不信。」
Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”
49 那大臣說:「先生,求你趁着我的孩子還沒有死就下去。」
Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”
50 耶穌對他說:「回去吧,你的兒子活了!」那人信耶穌所說的話就回去了。
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 正下去的時候,他的僕人迎見他,說他的兒子活了。
Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye.
52 他就問甚麼時候見好的。他們說:「昨日未時熱就退了。」
N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”
53 他便知道這正是耶穌對他說「你兒子活了」的時候;他自己和全家就都信了。
Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 這是耶穌在加利利行的第二件神蹟,是他從猶太回去以後行的。
Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.

< 約翰福音 4 >