< 約翰福音 18 >

1 耶穌說了這話,就同門徒出去,過了汲淪溪。在那裏有一個園子,他和門徒進去了。
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.
2 賣耶穌的猶大也知道那地方,因為耶穌和門徒屢次上那裏去聚集。
Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be.
3 猶大領了一隊兵,和祭司長並法利賽人的差役,拿着燈籠、火把、兵器,就來到園裏。
Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.
4 耶穌知道將要臨到自己的一切事,就出來對他們說:「你們找誰?」
Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?”
5 他們回答說:「找拿撒勒人耶穌。」耶穌說:「我就是!」賣他的猶大也同他們站在那裏。
Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6 耶穌一說「我就是」,他們就退後倒在地上。
Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.
7 他又問他們說:「你們找誰?」他們說:「找拿撒勒人耶穌。」
Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.”
8 耶穌說:「我已經告訴你們,我就是。你們若找我,就讓這些人去吧。」
Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.”
9 這要應驗耶穌從前的話,說:「你所賜給我的人,我沒有失落一個。」
Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”
10 西門‧彼得帶着一把刀,就拔出來,將大祭司的僕人砍了一刀,削掉他的右耳;那僕人名叫馬勒古。
Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko.
11 耶穌就對彼得說:「收刀入鞘吧,我父所給我的那杯,我豈可不喝呢?」
Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”
12 那隊兵和千夫長,並猶太人的差役就拿住耶穌,把他捆綁了,
Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba.
13 先帶到亞那面前,因為亞那是本年作大祭司該亞法的岳父。
Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.
14 這該亞法就是從前向猶太人發議論說「一個人替百姓死是有益的」那位。
Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”
15 西門‧彼得跟着耶穌,還有一個門徒跟着。那門徒是大祭司所認識的,他就同耶穌進了大祭司的院子。
Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu,
16 彼得卻站在門外。大祭司所認識的那個門徒出來,和看門的使女說了一聲,就領彼得進去。
nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.
17 那看門的使女對彼得說:「你不也是這人的門徒嗎?」他說:「我不是。」
Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?” Peetero n’addamu nti, “Nedda.”
18 僕人和差役因為天冷,就生了炭火,站在那裏烤火;彼得也同他們站着烤火。
Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.
19 大祭司就以耶穌的門徒和他的教訓盤問他。
Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.
20 耶穌回答說:「我從來是明明地對世人說話。我常在會堂和殿裏,就是猶太人聚集的地方教訓人;我在暗地裏並沒有說甚麼。
Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama.
21 你為甚麼問我呢?可以問那聽見的人,我對他們說的是甚麼;我所說的,他們都知道。」
Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”
22 耶穌說了這話,旁邊站着的一個差役用手掌打他,說:「你這樣回答大祭司嗎?」
Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”
23 耶穌說:「我若說的不是,你可以指證那不是;我若說的是,你為甚麼打我呢?」
Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?”
24 亞那就把耶穌解到大祭司該亞法那裏,仍是捆着解去的。
Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.
25 西門‧彼得正站着烤火,有人對他說:「你不也是他的門徒嗎?」彼得不承認,說:「我不是。」
Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?” N’abaddamu nti, “Nedda.”
26 有大祭司的一個僕人,是彼得削掉耳朵那人的親屬,說:「我不是看見你同他在園子裏嗎?」
Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?”
27 彼得又不承認。立時雞就叫了。
Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.
28 眾人將耶穌從該亞法那裏往衙門內解去,那時天還早。他們自己卻不進衙門,恐怕染了污穢,不能吃逾越節的筵席。
Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako.
29 彼拉多就出來,到他們那裏,說:「你們告這人是為甚麼事呢?」
Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”
30 他們回答說:「這人若不是作惡的,我們就不把他交給你。」
Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”
31 彼拉多說:「你們自己帶他去,按着你們的律法審問他吧。」猶太人說:「我們沒有殺人的權柄。」
Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”
32 這要應驗耶穌所說自己將要怎樣死的話了。
Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.
33 彼拉多又進了衙門,叫耶穌來,對他說:「你是猶太人的王嗎?」
Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”
34 耶穌回答說:「這話是你自己說的,還是別人論我對你說的呢?」
Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”
35 彼拉多說:「我豈是猶太人呢?你本國的人和祭司長把你交給我。你做了甚麼事呢?」
Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”
36 耶穌回答說:「我的國不屬這世界;我的國若屬這世界,我的臣僕必要爭戰,使我不至於被交給猶太人。只是我的國不屬這世界。」
Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”
37 彼拉多就對他說:「這樣,你是王嗎?」耶穌回答說:「你說我是王。我為此而生,也為此來到世間,特為給真理作見證。凡屬真理的人就聽我的話。」
Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”
38 彼拉多說:「真理是甚麼呢?」 說了這話,又出來到猶太人那裏,對他們說:「我查不出他有甚麼罪來。
Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango.
39 但你們有個規矩,在逾越節要我給你們釋放一個人,你們要我給你們釋放猶太人的王嗎?」
Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”
40 他們又喊着說:「不要這人,要巴拉巴!」這巴拉巴是個強盜。
Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.

< 約翰福音 18 >