< 約珥書 2 >

1 你們要在錫安吹角, 在我聖山吹出大聲。 國中的居民都要發顫; 因為耶和華的日子將到, 已經臨近。
Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka.
2 那日是黑暗、幽冥、 密雲、烏黑的日子, 好像晨光鋪滿山嶺。 有一隊蝗蟲又大又強; 從來沒有這樣的, 以後直到萬代也必沒有。
Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza; olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte. Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo, ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
3 牠們前面如火燒滅, 後面如火焰燒盡。 未到以前,地如伊甸園; 過去以後,成了荒涼的曠野; 沒有一樣能躲避牠們的。
Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu, n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4 牠們的形狀如馬, 奔跑如馬兵。
Zifaanana ng’embalaasi, era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5 在山頂蹦跳的響聲如車輛的響聲, 又如火焰燒碎稭的響聲, 好像強盛的民擺陣預備打仗。
Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
6 牠們一來,眾民傷慟, 臉都變色。
Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu.
7 牠們如勇士奔跑, 像戰士爬城; 各都步行,不亂隊伍。
Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba n’akamu.
8 彼此並不擁擠,向前各行其路, 直闖兵器,不偏左右。
Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9 牠們蹦上城,躥上牆, 爬上房屋, 進入窗戶如同盜賊。
Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
10 牠們一來, 地震天動, 日月昏暗, 星宿無光。
Zikankanya ensi era n’eggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba n’omwezi, era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 耶和華在他軍旅前發聲, 他的隊伍甚大; 成就他命的是強盛者。 因為耶和華的日子大而可畏, 誰能當得起呢?
Mukama akulembera eggye lye n’eddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
12 耶和華說:雖然如此, 你們應當禁食、哭泣、悲哀, 一心歸向我。
Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna. Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
13 你們要撕裂心腸, 不撕裂衣服。 歸向耶和華-你們的上帝; 因為他有恩典,有憐憫, 不輕易發怒, 有豐盛的慈愛, 並且後悔不降所說的災。
Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 或者他轉意後悔,留下餘福, 就是留下獻給耶和華-你們上帝的素祭和奠祭, 也未可知。
Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa, n’abawa omukisa gwe ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
15 你們要在錫安吹角, 分定禁食的日子, 宣告嚴肅會。
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba okutukuvu. Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 聚集眾民,使會眾自潔: 招聚老者, 聚集孩童和吃奶的; 使新郎出離洞房, 新婦出離內室。
Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato n’abo abakyali ku mabeere. N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 事奉耶和華的祭司 要在廊子和祭壇中間哭泣,說: 耶和華啊,求你顧惜你的百姓, 不要使你的產業受羞辱, 列邦管轄他們。 為何容列國的人說: 「他們的上帝在哪裏」呢?
Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’”
18 耶和華就為自己的地發熱心, 憐恤他的百姓。
Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa, n’asaasira abantu be.
19 耶和華應允他的百姓說: 我必賜給你們五穀、新酒,和油, 使你們飽足; 我也不再使你們受列國的羞辱;
N’ayanukula abantu be nti, “Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta, ebimala okubakkusiza ddala, era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume, bannaggwanga amalala ne babasekerera.
20 卻要使北方來的軍隊遠離你們, 將他們趕到乾旱荒廢之地: 前隊趕入東海, 後隊趕入西海; 因為他們所行的大惡, 臭氣上升,腥味騰空。
“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba, n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba. Ekivundu n’okuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
21 地土啊,不要懼怕; 要歡喜快樂, 因為耶和華行了大事。
Mwe abali mu nsi, temutya. Musanyuke era mujaguze; kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22 田野的走獸啊,不要懼怕; 因為,曠野的草發生, 樹木結果, 無花果樹、葡萄樹也都效力。
Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya; kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde. Emiti gibaze ebibala byagyo, era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 錫安的民哪,你們要快樂, 為耶和華-你們的上帝歡喜; 因他賜給你們合宜的秋雨, 為你們降下甘霖, 就是秋雨、春雨,和先前一樣。
Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo mu mwaka ng’obw’edda.
24 禾場必滿了麥子; 酒醡與油醡必有新酒和油盈溢。
Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano, n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.
25 我打發到你們中間的大軍隊, 就是蝗蟲、蝻子、螞蚱、剪蟲, 那些年所吃的,我要補還你們。
“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, n’enzige ezisala obusazi, awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 你們必多吃而得飽足, 就讚美為你們行奇妙事之耶和華-你們上帝的名。 我的百姓必永遠不致羞愧。
Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 你們必知道我是在以色列中間, 又知道我是耶和華-你們的上帝; 在我以外並無別神。 我的百姓必永遠不致羞愧。
Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
28 以後,我要將我的靈澆灌凡有血氣的。 你們的兒女要說預言; 你們的老年人要做異夢, 少年人要見異象。
“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 在那些日子, 我要將我的靈澆灌我的僕人和使女。
Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 「在天上地下,我要顯出奇事,有血,有火,有煙柱。
Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 日頭要變為黑暗,月亮要變為血,這都在耶和華大而可畏的日子未到以前。
Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 到那時候,凡求告耶和華名的就必得救;因為照耶和華所說的,在錫安山,耶路撒冷必有逃脫的人,在剩下的人中必有耶和華所召的。」
Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bw’ayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

< 約珥書 2 >