< 約伯記 40 >

1 耶和華又對約伯說:
Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2 強辯的豈可與全能者爭論嗎? 與上帝辯駁的可以回答這些吧!
“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3 於是,約伯回答耶和華說:
Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4 我是卑賤的!我用甚麼回答你呢? 只好用手摀口。
“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5 我說了一次,再不回答; 說了兩次,就不再說。
Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6 於是,耶和華從旋風中回答約伯說:
Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7 你要如勇士束腰; 我問你,你可以指示我。
“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu.
8 你豈可廢棄我所擬定的? 豈可定我有罪,好顯自己為義嗎?
“Onojjulula ensala yange ey’emisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9 你有上帝那樣的膀臂嗎? 你能像他發雷聲嗎?
Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 你要以榮耀莊嚴為妝飾, 以尊榮威嚴為衣服;
Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 要發出你滿溢的怒氣, 見一切驕傲的人,使他降卑;
Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 見一切驕傲的人,將他制伏, 把惡人踐踏在本處;
Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13 將他們一同隱藏在塵土中, 把他們的臉蒙蔽在隱密處;
Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 我就認你右手能以救自己。
Nange kennyini ndyoke nzikirize, ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
15 你且觀看河馬; 我造你也造牠。 牠吃草與牛一樣;
“Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu kye natonda nga ggwe, erya omuddo ng’ente,
16 牠的氣力在腰間, 能力在肚腹的筋上。
nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17 牠搖動尾巴如香柏樹; 牠大腿的筋互相聯絡。
Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18 牠的骨頭好像銅管; 牠的肢體彷彿鐵棍。
Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo; amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 牠在上帝所造的物中為首; 創造牠的給牠刀劍。
Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 諸山給牠出食物, 也是百獸遊玩之處。
Weewaawo ensozi zikireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21 牠伏在蓮葉之下, 臥在蘆葦隱密處和水窪子裏。
Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka, ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 蓮葉的陰涼遮蔽牠; 溪旁的柳樹環繞牠。
Ebisiikirize by’emiti bikibikkako, emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23 河水泛濫,牠不發戰; 就是約旦河的水漲到牠口邊,也是安然。
Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga; kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 在牠防備的時候,誰能捉拿牠? 誰能牢籠牠穿牠的鼻子呢?
Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata, oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”

< 約伯記 40 >