< 約伯記 38 >

1 那時,耶和華從旋風中回答約伯說:
Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2 誰用無知的言語使我的旨意暗昧不明?
“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, n’ebigambo ebitaliimu magezi?
3 你要如勇士束腰; 我問你,你可以指示我。
Yambala ebyambalo byo ng’omusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu.
4 我立大地根基的時候,你在哪裏呢? 你若有聰明,只管說吧!
“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi? Mbuulira bw’oba otegeera.
5 你若曉得就說,是誰定地的尺度? 是誰把準繩拉在其上?
Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba?
6 地的根基安置在何處? 地的角石是誰安放的?
Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7 那時,晨星一同歌唱; 上帝的眾子也都歡呼。
Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba, era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
8 海水衝出,如出胎胞, 那時誰將它關閉呢?
ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo?
9 是我用雲彩當海的衣服, 用幽暗當包裹它的布,
“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 為它定界限, 又安門和閂,
bwe n’abiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 說:你只可到這裏,不可越過; 你狂傲的浪要到此止住。
bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
12 你自生以來,曾命定晨光, 使清晨的日光知道本位,
“Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi, oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 叫這光普照地的四極, 將惡人從其中驅逐出來嗎?
eryoke ekwate ensi w’ekoma eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14 因這光,地面改變如泥上印印, 萬物出現如衣服一樣。
Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero, ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 亮光不照惡人; 強橫的膀臂也必折斷。
Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe, n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.
16 你曾進到海源, 或在深淵的隱密處行走嗎?
“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka, oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 死亡的門曾向你顯露嗎? 死蔭的門你曾見過嗎?
Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 地的廣大你能明透嗎? 你若全知道,只管說吧!
Wali otegedde obugazi bw’ensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi.
19 光明的居所從何而至? 黑暗的本位在於何處?
“Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa? N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 你能帶到本境, 能看明其室之路嗎?
Ddala, osobola okubitwala gye bibeera? Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 你總知道, 因為你早已生在世上, 你日子的數目也多。
Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi, kubanga wali wazaalibwa dda!
22 你曾進入雪庫, 或見過雹倉嗎?
“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa, oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 這雪雹乃是我為降災, 並打仗和爭戰的日子所預備的。
Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana, bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 光亮從何路分開? 東風從何路分散遍地?
Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira, oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 誰為雨水分道? 誰為雷電開路?
Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita, oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 使雨降在無人之地、 無人居住的曠野?
Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera, eddungu omutali muntu yenna,
27 使荒廢淒涼之地得以豐足, 青草得以發生?
n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika, n’okulimezaako omuddo?
28 雨有父嗎? 露水珠是誰生的呢?
Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 冰出於誰的胎? 天上的霜是誰生的呢?
Omuzira guva mu lubuto lw’ani? Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 諸水堅硬如石頭; 深淵之面凝結成冰。
amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja, ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
31 你能繫住昴星的結嗎? 能解開參星的帶嗎?
“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga, oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 你能按時領出十二宮嗎? 能引導北斗和隨它的眾星嗎?
Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse, oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 你知道天的定例嗎? 能使地歸在天的權下嗎?
Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
34 你能向雲彩揚起聲來, 使傾盆的雨遮蓋你嗎?
“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire, olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 你能發出閃電,叫它行去, 使它對你說:我們在這裏?
Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke? Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 誰將智慧放在懷中? 誰將聰明賜於心內?
Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu, oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 誰能用智慧數算雲彩呢? 塵土聚集成團,土塊緊緊結連; 那時,誰能傾倒天上的瓶呢?
Ani alina amagezi agabala ebire? Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu, era amafunfugu ne geegattira ddala?
39 母獅子在洞中蹲伏, 少壯獅子在隱密處埋伏; 你能為牠們抓取食物, 使牠們飽足嗎?
“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya, oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
bwe zeezinga mu mpuku zaazo, oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41 烏鴉之雛因無食物飛來飛去,哀告上帝; 那時,誰為牠預備食物呢?
Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”

< 約伯記 38 >