< 約伯記 17 >

1 我的心靈消耗,我的日子滅盡; 墳墓為我預備好了。
Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze.
2 真有戲笑我的在我這裏, 我眼常見他們惹動我。
Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera.
3 願主拿憑據給我,自己為我作保。 在你以外誰肯與我擊掌呢?
“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba. Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 因你使他們心不明理, 所以你必不高舉他們。
Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 控告他的朋友、以朋友為可搶奪的, 連他兒女的眼睛也要失明。
Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 上帝使我作了民中的笑談; 他們也吐唾沫在我臉上。
“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 我的眼睛因憂愁昏花; 我的百體好像影兒。
Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 正直人因此必驚奇; 無辜的人要興起攻擊不敬虔之輩。
Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 然而,義人要持守所行的道; 手潔的人要力上加力。
Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 至於你們眾人,可以再來辯論吧! 你們中間,我找不着一個智慧人。
“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 我的日子已經過了; 我的謀算、我心所想望的已經斷絕。
Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 他們以黑夜為白晝, 說:亮光近乎黑暗。
Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 我若盼望陰間為我的房屋, 若下榻在黑暗中, (Sheol h7585)
Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza, (Sheol h7585)
14 若對朽壞說:你是我的父; 對蟲說:你是我的母親姊妹;
ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 這樣,我的指望在哪裏呢? 我所指望的誰能看見呢?
kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba?
16 等到安息在塵土中, 這指望必下到陰間的門閂那裏了。 (Sheol h7585)
Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?” (Sheol h7585)

< 約伯記 17 >