< 耶利米書 42 >

1 眾軍長和加利亞的兒子約哈難,並何沙雅的兒子耶撒尼亞以及眾百姓,從最小的到至大的都進前來,
Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira
2 對先知耶利米說:「求你准我們在你面前祈求,為我們這剩下的人禱告耶和華-你的上帝。我們本來眾多,現在剩下的極少,這是你親眼所見的。
nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo.
3 願耶和華-你的上帝指示我們所當走的路,所當做的事。」
Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”
4 先知耶利米對他們說:「我已經聽見你們了,我必照着你們的話禱告耶和華-你們的上帝。耶和華無論回答甚麼,我必都告訴你們,毫不隱瞞。」
Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”
5 於是他們對耶利米說:「我們若不照耶和華-你的上帝差遣你來說的一切話行,願耶和華在我們中間作真實誠信的見證。
Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba.
6 我們現在請你到耶和華-我們的上帝面前,他說的無論是好是歹,我們都必聽從;我們聽從耶和華-我們上帝的話,就可以得福。」
Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”
7 過了十天,耶和華的話臨到耶利米。
Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya.
8 他就將加利亞的兒子約哈難和同着他的眾軍長,並眾百姓,從最小的到至大的都叫了來,
N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu.
9 對他們說:「耶和華-以色列的上帝,就是你們請我在他面前為你們祈求的主,如此說:
N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti,
10 『你們若仍住在這地,我就建立你們,必不拆毀,栽植你們,並不拔出,因我為降與你們的災禍後悔了。
‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako.
11 不要怕你們所怕的巴比倫王。』」耶和華說:「不要怕他!因為我與你們同在,要拯救你們脫離他的手。
Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo.
12 我也要使他發憐憫,好憐憫你們,叫你們歸回本地。
Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’
13 倘若你們說:『我們不住在這地』,以致不聽從耶和華-你們上帝的話,
“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe.
14 說:『我們不住這地,卻要進入埃及地,在那裏看不見爭戰,聽不見角聲,也不致無食飢餓。我們必住在那裏。』
Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’
15 你們所剩下的猶大人哪,現在要聽耶和華的話。萬軍之耶和華-以色列的上帝如此說:『你們若定意要進入埃及,在那裏寄居,
kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala,
16 你們所懼怕的刀劍在埃及地必追上你們!你們所懼怕的饑荒在埃及要緊緊地跟隨你們!你們必死在那裏!
olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira.
17 凡定意要進入埃及在那裏寄居的必遭刀劍、饑荒、瘟疫而死,無一人存留,逃脫我所降與他們的災禍。』
Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’
18 「萬軍之耶和華-以色列的上帝如此說:『我怎樣將我的怒氣和忿怒傾在耶路撒冷的居民身上,你們進入埃及的時候,我也必照樣將我的忿怒傾在你們身上,以致你們令人辱罵、驚駭、咒詛、羞辱,你們不得再見這地方。』
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’
19 所剩下的猶大人哪,耶和華論到你們說:『不要進入埃及去。』你們要確實地知道我今日警教你們了。
“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero
20 你們行詭詐自害;因為你們請我到耶和華-你們的上帝那裏,說:『求你為我們禱告耶和華-我們上帝,照耶和華-我們的上帝一切所說的告訴我們,我們就必遵行。』
nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’
21 我今日將這話告訴你們,耶和華-你們的上帝為你們的事差遣我到你們那裏說的,你們卻一樣沒有聽從。
Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba.
22 現在你們要確實地知道,你們在所要去寄居之地必遭刀劍、饑荒、瘟疫而死。」
Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

< 耶利米書 42 >