< 耶利米書 25 >
1 猶大王約西亞的兒子約雅敬第四年,就是巴比倫王尼布甲尼撒的元年,耶和華論猶大眾民的話臨到耶利米。
Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni.
2 先知耶利米就將這話對猶大眾人和耶路撒冷的一切居民說:
Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti,
3 「從猶大王亞們的兒子約西亞十三年直到今日,這二十三年之內,常有耶和華的話臨到我;我也對你們傳說,就是從早起來傳說,只是你們沒有聽從。
Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
4 耶和華也從早起來,差遣他的僕人眾先知到你們這裏來(只是你們沒有聽從,也沒有側耳而聽),
Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo.
5 說:『你們各人當回頭,離開惡道和所作的惡,便可居住耶和華古時所賜給你們和你們列祖之地,直到永遠。
Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna.
6 不可隨從別神事奉敬拜,以你們手所做的惹我發怒;這樣,我就不加害與你們。
Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
7 然而你們沒有聽從我,竟以手所做的惹我發怒,陷害自己。這是耶和華說的。』」
“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
8 所以萬軍之耶和華如此說:「因為你們沒有聽從我的話,
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange,
9 我必召北方的眾族和我僕人巴比倫王尼布甲尼撒來攻擊這地和這地的居民,並四圍一切的國民。我要將他們盡行滅絕,以致他們令人驚駭、嗤笑,並且永久荒涼。這是耶和華說的。
nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.
10 我又要使歡喜和快樂的聲音,新郎和新婦的聲音,推磨的聲音和燈的亮光,從他們中間止息。
Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala.
11 這全地必然荒涼,令人驚駭。這些國民要服事巴比倫王七十年。
Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
12 七十年滿了以後,我必刑罰巴比倫王和那國民,並迦勒底人之地,因他們的罪孽使那地永遠荒涼。這是耶和華說的。
“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
13 我也必使我向那地所說的話,就是記在這書上的話,是耶利米向這些國民說的預言,都臨到那地。
“Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna.
14 因為有多國和大君王必使迦勒底人作奴僕;我也必照他們的行為,按他們手所做的報應他們。」
Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
15 耶和華-以色列的上帝對我如此說:「你從我手中接這杯忿怒的酒,使我所差遣你去的各國的民喝。
Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa.
16 他們喝了就要東倒西歪,並要發狂,因我使刀劍臨到他們中間。」
Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”
17 我就從耶和華的手中接了這杯,給耶和華所差遣我去的各國的民喝,
Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;
18 就是耶路撒冷和猶大的城邑,並耶路撒冷的君王與首領,使這城邑荒涼,令人驚駭、嗤笑、咒詛,正如今日一樣。
Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
19 又有埃及王法老和他的臣僕、首領,以及他的眾民,
Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna,
20 並雜族的人民和烏斯地的諸王,與非利士地的諸王(亞實基倫、迦薩、以革倫,以及亞實突剩下的人);
n’abagwira bonna abaaliyo; bakabaka ba Uzi bonna, ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,
n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,
bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,
ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;
ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;
26 北方遠近的諸王,以及天下地上的萬國喝了,以後示沙克王也要喝。
n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
27 「你要對他們說:『萬軍之耶和華-以色列的上帝如此說:你們要喝,且要喝醉,要嘔吐,且要跌倒,不得再起來,都因我使刀劍臨到你們中間。』
“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’
28 「他們若不肯從你手接這杯喝,你就要對他們說:『萬軍之耶和華如此說:你們一定要喝!
Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa!
29 我既從稱為我名下的城起首施行災禍,你們能盡免刑罰嗎?你們必不能免,因為我要命刀劍臨到地上一切的居民。這是萬軍之耶和華說的。』
Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
30 「所以你要向他們預言這一切的話,攻擊他們,說: 耶和華必從高天吼叫, 從聖所發聲, 向自己的羊群大聲吼叫; 他要向地上一切的居民吶喊, 像踹葡萄的一樣。
“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti, “‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu, era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi. Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu, ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 必有響聲達到地極, 因為耶和華與列國相爭; 凡有血氣的,他必審問; 至於惡人,他必交給刀劍。 這是耶和華說的。
Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma. Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana, alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’” bw’ayogera Mukama.
32 萬軍之耶和華如此說: 看哪,必有災禍從這國發到那國, 並有大暴風從地極颳起。
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi; enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
33 「到那日,從地這邊直到地那邊都有耶和華所殺戮的。必無人哀哭,不得收殮,不得葬埋,必在地上成為糞土。
Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
34 牧人哪,你們當哀號,呼喊; 群眾的頭目啊,你們要滾在灰中; 因為你們被殺戮分散的日子足足來到。 你們要跌碎,好像美器打碎一樣。
Mukaabe mulaajane mmwe abasumba, mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo. Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
Abasumba tebaabeeko na buddukiro, n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
36 聽啊,有牧人呼喊, 有群眾頭目哀號的聲音, 因為耶和華使他們的草場變為荒場。
Muwulire okukaaba kw’abasumba, okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo, kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
37 耶和華發出猛烈的怒氣, 平安的羊圈就都寂靜無聲。
Amalundiro amalungi galifuuka matongo olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
38 他離了隱密處像獅子一樣, 他們的地,因刀劍凶猛的欺壓, 又因他猛烈的怒氣都成為可驚駭的。」
Ajja kuleka ekisulo kye ng’empologoma bw’eva w’esula, n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.