< 以賽亞書 59 >
1 耶和華的膀臂並非縮短,不能拯救, 耳朵並非發沉,不能聽見,
Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola, era si muzibe wa matu nti tawulira.
2 但你們的罪孽使你們與上帝隔絕; 你們的罪惡使他掩面不聽你們。
Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, n’atawulira.
3 因你們的手被血沾染, 你們的指頭被罪孽沾污, 你們的嘴唇說謊言, 你們的舌頭出惡語。
Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu, emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba, n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
4 無一人按公義告狀, 無一人憑誠實辯白; 都倚靠虛妄,說謊言。 所懷的是毒害; 所生的是罪孽。
Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima; Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba, ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5 他們菢毒蛇蛋, 結蜘蛛網; 人吃這蛋必死。 這蛋被踏,必出蝮蛇。
Baalula amagi ag’essalambwa ne balanga ewuzi za nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6 所結的網不能成為衣服; 所做的也不能遮蓋自己。 他們的行為都是罪孽; 手所做的都是強暴。
Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba, ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi! Tebasobola kuzeebikka. Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
7 他們的腳奔跑行惡; 他們急速流無辜人的血; 意念都是罪孽, 所經過的路都荒涼毀滅。
Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango. Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi, n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8 平安的路,他們不知道; 所行的事沒有公平。 他們為自己修彎曲的路; 凡行此路的都不知道平安。
Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe. Beekubidde amakubo, tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.
9 因此,公平離我們遠, 公義追不上我們。 我們指望光亮,卻是黑暗, 指望光明,卻行幽暗。
Amazima gatuli wala, n’obutuukirivu tetubufunye. Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko, we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 我們摸索牆壁,好像瞎子; 我們摸索,如同無目之人。 我們晌午絆腳,如在黃昏一樣; 我們在肥壯人中,像死人一般。
Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe, ne tukwatakwata ng’abatalina maaso; twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi ne tuba ng’abafu.
11 我們咆哮如熊, 哀鳴如鴿; 指望公平,卻是沒有; 指望救恩,卻遠離我們。
Ffenna tuwuluguma ng’eddubu ne tusinda nga bukaamukuukulu. Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere, n’obulokozi butuliwala.
12 我們的過犯在你面前增多, 罪惡作見證告我們; 過犯與我們同在。 至於我們的罪孽,我們都知道:
Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go era ebibi byaffe bitulumiriza, kubanga ebisobyo byaffe biri naffe, era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 就是悖逆、不認識耶和華, 轉去不跟從我們的上帝, 說欺壓和叛逆的話, 心懷謊言,隨即說出。
obujeemu n’enkwe eri Mukama era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe. Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza, okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 並且公平轉而退後, 公義站在遠處; 誠實在街上仆倒, 正直也不得進入。
Obwenkanya buddiridde n’obutuukirivu ne bubeera wala. Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 誠實少見; 離惡的人反成掠物。 那時,耶和華看見沒有公平, 甚不喜悅。
Tewali w’oyinza kusanga mazima, era oyo ava ku kibi asuulibwa. Mukama yakiraba n’atasanyuka kubanga tewaali bwenkanya.
16 他見無人拯救, 無人代求,甚為詫異, 就用自己的膀臂施行拯救, 以公義扶持自己。
N’alaba nga tewali muntu, ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira. Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 他以公義為鎧甲, 以拯救為頭盔, 以報仇為衣服, 以熱心為外袍。
Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba, era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe; n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 他必按人的行為施報, 惱怒他的敵人, 報復他的仇敵, 向眾海島施行報應。
Ng’ebikolwa byabwe bwe biri bwalisasula ekiruyi ku balabe be, n’abamukyawa alibawa empeera yaabwe, n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 如此,人從日落之處必敬畏耶和華的名, 從日出之地也必敬畏他的榮耀; 因為仇敵好像急流的河水沖來, 是耶和華之氣所驅逐的。
Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba, kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi, omukka gwa Mukama gwe gutwala.
20 必有一位救贖主來到錫安- 雅各族中轉離過犯的人那裏。 這是耶和華說的。
“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,” bw’ayogera Mukama.
21 耶和華說:「至於我與他們所立的約乃是這樣:我加給你的靈,傳給你的話,必不離你的口,也不離你後裔與你後裔之後裔的口,從今直到永遠;這是耶和華說的。」
“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.