< 以賽亞書 32 >

1 看哪,必有一王憑公義行政; 必有首領藉公平掌權。
Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu, n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
2 必有一人像避風所和避暴雨的隱密處, 又像河流在乾旱之地, 像大磐石的影子在疲乏之地。
Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo, ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga, ng’emigga gy’amazzi mu ddungu, ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
3 那能看的人,眼不再昏迷; 能聽的人,耳必得聽聞。
Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba, n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 冒失人的心必明白知識; 結吧人的舌必說話通快。
Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera, n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
5 愚頑人不再稱為高明; 吝嗇人不再稱為大方。
Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
6 因為愚頑人必說愚頑話, 心裏想作罪孽, 慣行褻瀆的事, 說錯謬的話攻擊耶和華, 使飢餓的人無食可吃, 使口渴的人無水可喝。
Omusirusiru ayogera bya busirusiru, n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. Akola eby’obutatya Katonda, era ayogera bya bulimba ku Mukama, n’abayala abaleka tebalina kintu, n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
7 吝嗇人所用的法子是惡的; 他圖謀惡計, 用謊言毀滅謙卑人; 窮乏人講公理的時候, 他也是這樣行。
Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
8 高明人卻謀高明事, 在高明事上也必永存。
Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa, era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
9 安逸的婦女啊,起來聽我的聲音! 無慮的女子啊,側耳聽我的言語!
Mmwe abakazi abateefiirayo, mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange; mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu, muwulire bye ŋŋamba.
10 無慮的女子啊,再過一年多,必受騷擾; 因為無葡萄可摘, 無果子可收。
Mu mwaka gumu oba n’okusingawo, mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya, amakungula g’emizabbibu galifa, n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 安逸的婦女啊,要戰兢; 無慮的女子啊,要受騷擾。 脫去衣服,赤着身體, 腰束麻布。
Mutye mmwe abakazi abateefiirayo, mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu. Muggyeko engoye zammwe, mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 她們必為美好的田地 和多結果的葡萄樹,搥胸哀哭。
Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa, olw’emizabbibu egyabalanga,
13 荊棘蒺藜必長在我百姓的地上, 又長在歡樂的城中和一切快樂的房屋上。
n’olw’ensi ey’abantu bange, ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti. Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu, na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 因為宮殿必被撇下, 多民的城必被離棄; 山岡望樓永為洞穴, 作野驢所喜樂的, 為羊群的草場。
Weewaawo ekigo kirirekebwawo, ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa. Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna, ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 等到聖靈從上澆灌我們, 曠野就變為肥田, 肥田看如樹林。
okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu, n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu, n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 那時,公平要居在曠野; 公義要居在肥田。
Obwenkanya bulituula mu ddungu, n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 公義的果效必是平安; 公義的效驗必是平穩,直到永遠。
Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe, n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 我的百姓必住在平安的居所, 安穩的住處,平靜的安歇所。
Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe, mu maka amateefu mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 ( 但要降冰雹打倒樹林; 城必全然拆平。)
Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo, n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 你們在各水邊撒種、 牧放牛驢的有福了!
ggwe oliraba omukisa, ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna, n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.

< 以賽亞書 32 >