< 以賽亞書 2 >

1 亞摩斯的兒子以賽亞得默示,論到猶大和耶路撒冷。
Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2 末後的日子,耶和華殿的山必堅立, 超乎諸山,高舉過於萬嶺; 萬民都要流歸這山。
Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira, luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna, era amawanga gonna galilwolekera.
3 必有許多國的民前往,說: 來吧,我們登耶和華的山, 奔雅各上帝的殿。 主必將他的道教訓我們; 我們也要行他的路。 因為訓誨必出於錫安; 耶和華的言語必出於耶路撒冷。
Abantu bangi balijja bagambe nti, Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, alyoke atuyigirize amakubo ge, tulyoke tutambulire mu mateeka ge. Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni, era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
4 他必在列國中施行審判, 為許多國民斷定是非。 他們要將刀打成犂頭, 把槍打成鐮刀。 這國不舉刀攻擊那國; 他們也不再學習戰事。
Alisala enkaayana z’amawanga, aliramula emisango gy’abantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
5 雅各家啊,來吧! 我們在耶和華的光明中行走。
Ggwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6 耶和華,你離棄了你百姓雅各家, 是因他們充滿了東方的風俗, 作觀兆的,像非利士人一樣, 並與外邦人擊掌。
Wayabulira abantu bo ab’ennyumba ya Yakobo, kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti, era basizza kimu ne bannamawanga.
7 他們的國滿了金銀, 財寶也無窮; 他們的地滿了馬匹, 車輛也無數。
Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu, n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo: ensi yaabwe ejjudde embalaasi, era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8 他們的地滿了偶像; 他們跪拜自己手所造的, 就是自己指頭所做的。
Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, engalo zaabwe gwe zeekolera.
9 卑賤人屈膝; 尊貴人下跪; 所以不可饒恕他們。
Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa, omuntu wa kussibwa wansi. Mukama, tobasonyiwa!
10 你當進入巖穴,藏在土中, 躲避耶和華的驚嚇和他威嚴的榮光。
Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 到那日,眼目高傲的必降為卑; 性情狂傲的都必屈膝; 惟獨耶和華被尊崇。
Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu n’amalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
12 必有萬軍耶和華降罰的一個日子, 要臨到驕傲狂妄的; 一切自高的都必降為卑;
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese eri abo bonna ab’amalala era abeewanise, eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde okwemanya n’okwewulira.
13 又臨到黎巴嫩高大的香柏樹和巴珊的橡樹;
Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni, emiwanvu emigulumivu, n’emivule gyonna egya Basani.
14 又臨到一切高山的峻嶺;
Era n’ensozi zonna empanvu, n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 又臨到高臺和堅固城牆;
Na buli mulongooti gwonna omuwanvu, na buli bbugwe gwe bakomese.
16 又臨到他施的船隻並一切可愛的美物。
Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi, n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 驕傲的必屈膝; 狂妄的必降卑。 在那日,惟獨耶和華被尊崇;
Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka, n’amalala g’abantu galissibwa; era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 偶像必全然廢棄。
N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
19 耶和華興起,使地大震動的時候, 人就進入石洞,進入土穴, 躲避耶和華的驚嚇和他威嚴的榮光。
Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 到那日,人必將為拜而造的金偶像、銀偶像 拋給田鼠和蝙蝠。
Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 到耶和華興起,使地大震動的時候, 人好進入磐石洞中和巖石穴裏, 躲避耶和華的驚嚇和他威嚴的榮光。
Balidduka ne beekukuma mu mpuku ez’amayinja amaatifu nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.
22 你們休要倚靠世人。 他鼻孔裏不過有氣息; 他在一切事上可算甚麼呢?
Mulekeraawo okwesiga omuntu alina omukka obukka mu nnyindo ze. Kiki ennyo kyali?

< 以賽亞書 2 >