< 以賽亞書 15 >

1 論摩押的默示: 一夜之間,摩押的亞珥變為荒廢, 歸於無有; 一夜之間,摩押的基珥變為荒廢, 歸於無有。
Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa ne kimalibwawo. Kiiri ekya Mowaabu nakyo ne kizikirizibwa mu kiro!
2 他們上巴益,又往底本, 到高處去哭泣。 摩押人因尼波和米底巴哀號, 各人頭上光禿, 鬍鬚剃淨。
Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi okukaabira mu ssabo lyabwe. Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
3 他們在街市上都腰束麻布, 在房頂上和寬闊處俱各哀號, 眼淚汪汪。
Beesibye ebibukutu mu nguudo; ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba. Buli muntu atema emiranga n’abikaabira amaziga amayitirivu.
4 希實本和以利亞利悲哀的聲音達到雅雜, 所以摩押帶兵器的高聲喊嚷, 人心戰兢。
Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
5 我心為摩押悲哀; 他的貴冑逃到瑣珥, 到伊基拉‧施利施亞。 他們上魯希坡,隨走隨哭; 在何羅念的路上,因毀滅舉起哀聲。
Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali ne Yegulasuserisiya. Bambuka e Lakisi nga bwe bakaaba; bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
6 因為寧林的水成為乾涸, 青草枯乾,嫩草滅沒, 青綠之物,一無所有。
Amazzi g’e Nimulimu gakalidde, omuddo guwotose, omuddo omugonvu, guggwaawo, tewali kintu kimera.
7 因此,摩押人所得的財物 和所積蓄的都要運過柳樹河。
Abantu basomoka akagga ak’enzingu nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
8 哀聲遍聞摩押的四境; 哀號的聲音達到以基蓮; 哀號的聲音達到比珥‧以琳。
Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu; amaloboozi gatuuse e Yegalayimu, n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
9 底們的水充滿了血; 我還要加增底們的災難, 叫獅子來追上摩押逃脫的民 和那地上所餘剩的人。
Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi, naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

< 以賽亞書 15 >