+ 創世記 1 >

1 起初,上帝創造天地。
Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.
2 地是空虛混沌,淵面黑暗;上帝的靈運行在水面上。
Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3 上帝說:「要有光」,就有了光。
Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
4 上帝看光是好的,就把光暗分開了。
Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza.
5 上帝稱光為「晝」,稱暗為「夜」。有晚上,有早晨,這是頭一日。
Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6 上帝說:「諸水之間要有空氣,將水分為上下。」
Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.”
7 上帝就造出空氣,將空氣以下的水、空氣以上的水分開了。事就這樣成了。
Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo.
8 上帝稱空氣為「天」。有晚上,有早晨,是第二日。
Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9 上帝說:「天下的水要聚在一處,使旱地露出來。」事就這樣成了。
Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
10 上帝稱旱地為「地」,稱水的聚處為「海」。上帝看着是好的。
Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11 上帝說:「地要發生青草和結種子的菜蔬,並結果子的樹木,各從其類,果子都包着核。」事就這樣成了。
Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
12 於是地發生了青草和結種子的菜蔬,各從其類;並結果子的樹木,各從其類;果子都包着核。上帝看着是好的。
Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
13 有晚上,有早晨,是第三日。
Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14 上帝說:「天上要有光體,可以分晝夜,作記號,定節令、日子、年歲,
Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka.
15 並要發光在天空,普照在地上。」事就這樣成了。
Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo.
16 於是上帝造了兩個大光,大的管晝,小的管夜,又造眾星,
Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye.
17 就把這些光擺列在天空,普照在地上,
Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi,
18 管理晝夜,分別明暗。上帝看着是好的。
enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi.
19 有晚上,有早晨,是第四日。
Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20 上帝說:「水要多多滋生有生命的物;要有雀鳥飛在地面以上,天空之中。」
Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”
21 上帝就造出大魚和水中所滋生各樣有生命的動物,各從其類;又造出各樣飛鳥,各從其類。上帝看着是好的。
Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
22 上帝就賜福給這一切,說:「滋生繁多,充滿海中的水;雀鳥也要多生在地上。」
Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.”
23 有晚上,有早晨,是第五日。
Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
24 上帝說:「地要生出活物來,各從其類;牲畜、昆蟲、野獸,各從其類。」事就這樣成了。
Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.
25 於是上帝造出野獸,各從其類;牲畜,各從其類;地上一切昆蟲,各從其類。上帝看着是好的。
Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
26 上帝說:「我們要照着我們的形像、按着我們的樣式造人,使他們管理海裏的魚、空中的鳥、地上的牲畜,和全地,並地上所爬的一切昆蟲。」
Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
27 上帝就照着自己的形像造人,乃是照着他的形像造男造女。
Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; n’abatonda omusajja n’omukazi.
28 上帝就賜福給他們,又對他們說:「要生養眾多,遍滿地面,治理這地,也要管理海裏的魚、空中的鳥,和地上各樣行動的活物。」
Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29 上帝說:「看哪,我將遍地上一切結種子的菜蔬和一切樹上所結有核的果子全賜給你們作食物。
Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.
30 至於地上的走獸和空中的飛鳥,並各樣爬在地上有生命的物,我將青草賜給牠們作食物。」事就這樣成了。
Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
31 上帝看着一切所造的都甚好。有晚上,有早晨,是第六日。
Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.

+ 創世記 1 >