< 以斯拉記 2 >
1 巴比倫王尼布甲尼撒從前擄到巴比倫之猶大省的人,現在他們的子孫從被擄到之地回耶路撒冷和猶大,各歸本城。
Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
2 他們是同着所羅巴伯、耶書亞、尼希米、西萊雅、利來雅、末底改、必珊、米斯拔、比革瓦伊、利宏、巴拿回來的。
Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana. Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
3 以色列人民的數目記在下面:巴錄的子孫二千一百七十二名;
bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri,
bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri,
bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano,
6 巴哈‧摩押的後裔,就是耶書亞和約押的子孫二千八百一十二名;
bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri,
bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano,
bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga,
bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri,
bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu,
bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri,
bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga,
bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana,
bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana,
bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu,
bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri,
bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu,
bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano.
Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu,
abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga,
abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana,
abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri,
25 基列‧耶琳人、基非拉人、比錄人共七百四十三名;
abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu,
abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu,
abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri,
abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu,
abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri,
abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga,
abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri,
abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano,
abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano,
n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu.
Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu,
bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri,
bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu,
bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu.
40 利未人:何達威雅的後裔,就是耶書亞和甲篾的子孫七十四名。
Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana.
Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu kikumi mu amakumi abiri mu munaana.
42 守門的:沙龍的子孫、亞特的子孫、達們的子孫、亞谷的子孫、哈底大的子孫、朔拜的子孫,共一百三十九名。
Bano be baakuumanga enzigi za yeekaalu: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda.
43 尼提寧:西哈的子孫、哈蘇巴的子孫、答巴俄的子孫、
Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55 所羅門僕人的後裔,就是瑣太的子孫、瑣斐列的子孫、比路大的子孫、
Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
57 示法提雅的子孫、哈替的子孫、玻黑列‧哈斯巴音的子孫、亞米的子孫。
bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.
Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
59 從特‧米拉、特‧哈薩、基綠、押但、音麥上來的,不能指明他們的宗族譜系是以色列人不是;
Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60 他們是第來雅的子孫、多比雅的子孫、尼哥大的子孫,共六百五十二名。
Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri.
61 祭司中,哈巴雅的子孫、哈哥斯的子孫、巴西萊的子孫;因為他們的先祖娶了基列人巴西萊的女兒為妻,所以起名叫巴西萊。
Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
62 這三家的人在族譜之中尋查自己的譜系,卻尋不着,因此算為不潔,不准供祭司的職任。
Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu.
63 省長對他們說:「不可吃至聖的物,直到有用烏陵和土明決疑的祭司興起來。」
Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga,
65 此外,還有他們的僕婢七千三百三十七名,又有歌唱的男女二百名。
okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu, n’abayimbi abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri.
Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano,
n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano, n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
68 有些族長到了耶路撒冷耶和華殿的地方,便為上帝的殿甘心獻上禮物,要重新建造。
Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda.
69 他們量力捐入工程庫的金子六萬一千達利克,銀子五千彌拿,並祭司的禮服一百件。
Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu, ne tani ssatu, n’ebyambalo bya bakabona kikumi mu ggwanika.
70 於是祭司、利未人、民中的一些人、歌唱的、守門的、尼提寧,並以色列眾人,各住在自己的城裏。
Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.