< 以西結書 47 >

1 他帶我回到殿門,見殿的門檻下有水往東流出(原來殿面朝東)。這水從檻下,由殿的右邊,在祭壇的南邊往下流。
Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto.
2 他帶我出北門,又領我從外邊轉到朝東的外門,見水從右邊流出。
N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo.
3 他手拿準繩往東出去的時候,量了一千肘,使我詵過水,水到踝子骨。
Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, n’alaga ku luuyi olw’ebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, n’alyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule.
4 他又量了一千肘,使我詵過水,水就到膝;再量了一千肘,使我詵過水,水便到腰;
N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato.
5 又量了一千肘,水便成了河,使我不能詵過。因為水勢漲起,成為可洑的水,不可詵的河。
N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa.
6 他對我說:「人子啊,你看見了甚麼?」 他就帶我回到河邊。
N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, kino okiraba?” N’anzizaayo ku lubalama lw’omugga.
7 我回到河邊的時候,見在河這邊與那邊的岸上有極多的樹木。
Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga.
8 他對我說:「這水往東方流去,必下到亞拉巴,直到海。所發出來的水必流入鹽海,使水變甜。
N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja amazzi ne galongooka.
9 這河水所到之處,凡滋生的動物都必生活,並且因這流來的水必有極多的魚,海水也變甜了。這河水所到之處,百物都必生活。
Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu.
10 必有漁夫站在河邊,從隱‧基底直到隱‧以革蓮,都作曬網之處。那魚各從其類,好像大海的魚甚多。
Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya.
11 只是泥濘之地與窪濕之處不得治好,必為鹽地。
Naye ebifo eby’ettosi n’ebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo.
12 在河這邊與那邊的岸上必生長各類的樹木;其果可作食物,葉子不枯乾,果子不斷絕。每月必結新果子,因為這水是從聖所流出來的。樹上的果子必作食物,葉子乃為治病。」
Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”
13 主耶和華如此說:「你們要照地的境界,按以色列十二支派分地為業。約瑟必得兩分。
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri.
14 你們承受這地為業,要彼此均分;因為我曾起誓應許將這地賜與你們的列祖;這地必歸你們為業。
Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.
15 「地的四界乃是如此:北界從大海往希特倫,直到西達達口。
“Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti: “Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi,
16 又往哈馬、比羅他、西伯蓮(西伯蓮在大馬士革與哈馬兩界中間),到浩蘭邊界的哈撒‧哈提干。
Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani.
17 這樣,境界從海邊往大馬士革地界上的哈薩‧以難,北邊以哈馬地為界。這是北界。
Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.
18 「東界在浩蘭、大馬士革、基列,和以色列地的中間,就是約旦河。你們要從北界量到東海。這是東界。
Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.
19 「南界是從他瑪到米利巴‧加低斯的水,延到埃及小河,直到大海。這是南界。
Ku luuyi olw’Obukiikaddyo eriva e Tamali okutuukira ddala ku mazzi ag’e Meribosukadesi, ne ku kagga ak’e Misiri okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikaddyo.
20 「西界就是大海,從南界直到哈馬口對面之地。這是西界。
Ku luuyi olw’ebugwanjuba, Ennyanja Ennene, ye Meditereeniya y’eriba ensalo okutuuka awayolekera awayingirirwa e Kamasi, era eyo y’eriba ensalo ey’Ebugwanjuba.
21 「你們要按着以色列的支派彼此分這地。
“Muligabana ensi eno ng’ebika bya Isirayiri bwe biri.
22 要拈鬮分這地為業,歸與自己和你們中間寄居的外人,就是在你們中間生養兒女的外人。你們要看他們如同以色列人中所生的一樣;他們在以色列支派中要與你們同得地業。
Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri.
23 外人寄居在哪支派中,你們就在那裏分給他地業。這是主耶和華說的。」
Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.

< 以西結書 47 >