< 出埃及記 40 >

1 耶和華曉諭摩西說:
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 「正月初一日,你要立起帳幕,
“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
3 把法櫃安放在裏面,用幔子將櫃遮掩。
Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi.
4 把桌子搬進去,擺設上面的物。把燈臺搬進去,點其上的燈。
Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza.
5 把燒香的金壇安在法櫃前,掛上帳幕的門簾。
Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.
6 把燔祭壇安在帳幕門前。
“Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
7 把洗濯盆安在會幕和壇的中間,在盆裏盛水。
olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi.
8 又在四圍立院帷,把院子的門簾掛上。
Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.
9 用膏油把帳幕和其中所有的都抹上,使帳幕和一切器具成聖,就都成聖。
“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu.
10 又要抹燔祭壇和一切器具,使壇成聖,就都成為至聖。
Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
11 要抹洗濯盆和盆座,使盆成聖。
Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.
12 要使亞倫和他兒子到會幕門口來,用水洗身。
“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi,
13 要給亞倫穿上聖衣,又膏他,使他成聖,可以給我供祭司的職分;
n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona.
14 又要使他兒子來,給他們穿上內袍。
Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona,
15 怎樣膏他們的父親,也要照樣膏他們,使他們給我供祭司的職分。他們世世代代凡受膏的,就永遠當祭司的職任。」
n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.”
16 摩西這樣行,都是照耶和華所吩咐他的。
Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.
17 第二年正月初一日,帳幕就立起來。
Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa.
18 摩西立起帳幕,安上帶卯的座,立上板,穿上閂,立起柱子。
Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo;
19 在帳幕以上搭罩棚,把罩棚的頂蓋蓋在其上,是照耶和華所吩咐他的。
n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
20 又把法版放在櫃裏,把槓穿在櫃的兩旁,把施恩座安在櫃上。
N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;
21 把櫃抬進帳幕,掛上遮掩櫃的幔子,把法櫃遮掩了,是照耶和華所吩咐他的。
n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 又把桌子安在會幕內,在帳幕北邊,在幔子外。
N’ayingiza emmeeza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi,
23 在桌子上將餅陳設在耶和華面前,是照耶和華所吩咐他的。
n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
24 又把燈臺安在會幕內,在帳幕南邊,與桌子相對,
N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza,
25 在耶和華面前點燈,是照耶和華所吩咐他的。
n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
26 把金壇安在會幕內的幔子前,
N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi,
27 在壇上燒了馨香料做的香,是照耶和華所吩咐他的。
n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
28 又掛上帳幕的門簾。
N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.
29 在會幕的帳幕門前,安設燔祭壇,把燔祭和素祭獻在其上,是照耶和華所吩咐他的。
N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 把洗濯盆安在會幕和壇的中間,盆中盛水,以便洗濯。
N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba;
31 摩西和亞倫並亞倫的兒子在這盆裏洗手洗腳。
Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe.
32 他們進會幕或就近壇的時候,便都洗濯,是照耶和華所吩咐他的。
Buli lwe baayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 在帳幕和壇的四圍立了院帷,把院子的門簾掛上。這樣,摩西就完了工。
N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.
34 當時,雲彩遮蓋會幕,耶和華的榮光就充滿了帳幕。
Awo ekire ne kibuutikira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama.
35 摩西不能進會幕;因為雲彩停在其上,並且耶和華的榮光充滿了帳幕。
Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
36 每逢雲彩從帳幕收上去,以色列人就起程前往;
Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula;
37 雲彩若不收上去,他們就不起程,直等到雲彩收上去。
naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako.
38 日間,耶和華的雲彩是在帳幕以上;夜間,雲中有火,在以色列全家的眼前。在他們所行的路上都是這樣。
Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.

< 出埃及記 40 >