< 出埃及記 39 >
1 比撒列用藍色、紫色、朱紅色線做精緻的衣服,在聖所用以供職,又為亞倫做聖衣,是照耶和華所吩咐摩西的。
Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
2 他用金線和藍色、紫色、朱紅色線,並撚的細麻做以弗得;
Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange.
3 把金子錘成薄片,剪出線來,與藍色、紫色、朱紅色線,用巧匠的手工一同繡上。
Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu.
4 又為以弗得做兩條相連的肩帶,接連在以弗得的兩頭。
Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi.
5 其上巧工織的帶子和以弗得一樣的做法,用以束上,與以弗得接連一塊,是用金線和藍色、紫色、朱紅色線,並撚的細麻做的,是照耶和華所吩咐摩西的。
Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 又琢出兩塊紅瑪瑙,鑲在金槽上,彷彿刻圖書,按着以色列兒子的名字雕刻;
Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri.
7 將這兩塊寶石安在以弗得的兩條肩帶上,為以色列人做紀念石,是照耶和華所吩咐摩西的。
Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
8 他用巧匠的手工做胸牌,和以弗得一樣的做法,用金線與藍色、紫色、朱紅色線,並撚的細麻做的。
Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange.
9 胸牌是四方的,疊為兩層;這兩層長一虎口,寬一虎口,
Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati.
10 上面鑲着寶石四行:第一行是紅寶石、紅璧璽、紅玉;
Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo;
ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi;
ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito;
13 第四行是水蒼玉、紅瑪瑙、碧玉。這都鑲在金槽中。
ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu.
14 這些寶石都是按着以色列十二個兒子的名字,彷彿刻圖書,刻十二個支派的名字。
Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka;
ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba.
Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba.
18 又把鍊子的那兩頭接在兩槽上,安在以弗得前面肩帶上。
Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi.
19 做兩個金環,安在胸牌的兩頭,在以弗得裏面的邊上,
Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi.
20 又做兩個金環,安在以弗得前面兩條肩帶的下邊,挨近相接之處,在以弗得巧工織的帶子以上。
Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi.
21 用一條藍細帶子把胸牌的環子和以弗得的環子繫住,使胸牌貼在以弗得巧工織的帶子上,不可與以弗得離縫,是照耶和華所吩咐摩西的。
Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna.
23 袍上留一領口,口的周圍織出領邊來,彷彿鎧甲的領口,免得破裂。
Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika.
24 在袍子底邊上,用藍色、紫色、朱紅色線,並撚的細麻做石榴,
Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi.
25 又用精金做鈴鐺,把鈴鐺釘在袍子周圍底邊上的石榴中間:
Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera;
26 一個鈴鐺一個石榴,一個鈴鐺一個石榴,在袍子周圍底邊上用以供職,是照耶和華所吩咐摩西的。
baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi.
28 並用細麻布做冠冕和華美的裹頭巾,用撚的細麻布做褲子,
Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange,
29 又用藍色、紫色、朱紅色線,並撚的細麻,以繡花的手工做腰帶,是照耶和華所吩咐摩西的。
n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 他用精金做聖冠上的牌,在上面按刻圖書之法,刻着「歸耶和華為聖」。
Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti: Mutukuvu wa Mukama.
31 又用一條藍細帶子將牌繫在冠冕上,是照耶和華所吩咐摩西的。
Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.
32 帳幕,就是會幕,一切的工就這樣做完了。凡耶和華所吩咐摩西的,以色列人都照樣做了。
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 他們送到摩西那裏。帳幕和帳幕的一切器具,就是鉤子、板、閂、柱子、帶卯的座,
Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa; Eweema yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
34 染紅公羊皮的蓋、海狗皮的頂蓋,和遮掩櫃的幔子,
ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;
essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;
emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati egy’Okulaga;
37 精金的燈臺和擺列的燈盞,與燈臺的一切器具,並點燈的油,
ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;
ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema;
39 銅壇和壇上的銅網,壇的槓並壇的一切器具,洗濯盆和盆座,
ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako; ebbensani ne ky’etuulamu;
40 院子的帷子和柱子,並帶卯的座,院子的門簾、繩子、橛子,並帳幕和會幕中一切使用的器具,
entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya, emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo; ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
41 精工做的禮服,和祭司亞倫並他兒子在聖所用以供祭司職分的聖衣。
ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.
42 這一切工作都是以色列人照耶和華所吩咐摩西做的。
Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola.
43 耶和華怎樣吩咐的,他們就怎樣做了。摩西看見一切的工都做成了,就給他們祝福。
Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.