< 出埃及記 37 >

1 比撒列用皂莢木做櫃,長二肘半,寬一肘半,高一肘半。
Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu.
2 裏外包上精金,四圍鑲上金牙邊,
N’agibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu.
3 又鑄四個金環,安在櫃的四腳上:這邊兩環,那邊兩環。
N’agiweeseza empeta nnya eza zaabu, n’azisiba ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala.
4 用皂莢木做兩根槓,用金包裹。
N’abajja emisituliro mu muti ogwa akasiya, n’agibikkako zaabu,
5 把槓穿在櫃旁的環內,以便抬櫃。
n’agisonseka mu mpeta ziri okusituzanga essanduuko.
6 用精金做施恩座,長二肘半,寬一肘半。
N’akolerako ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo bwali mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
7 用金子錘出兩個基路伯來,安在施恩座的兩頭,
N’akolerako ne bakerubi babiri mu zaabu omuweese ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira.
8 這頭做一個基路伯,那頭做一個基路伯,二基路伯接連一塊,在施恩座的兩頭。
Kerubi omu yamuteeka ku ludda lumu olw’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ne kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga bakerubi bombi beekutte wamu n’ekisaanikirako, ye ntebe ey’okusaasira.
9 二基路伯高張翅膀,遮掩施恩座;基路伯是臉對臉,朝着施恩座。
Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira.
10 他用皂莢木做一張桌子,長二肘,寬一肘,高一肘半,
N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
11 又包上精金,四圍鑲上金牙邊。
N’agibikkako zaabu omuka ennyo, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu.
12 桌子的四圍各做一掌寬的橫樑,橫樑上鑲着金牙邊,
N’agikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo.
13 又鑄了四個金環,安在桌子四腳的四角上。
N’aweesa empeta nnya eza zaabu, n’azisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana.
14 安環子的地方是挨近橫梁,可以穿槓抬桌子。
Empeta ezo yazissa kumpi n’olukugiro ziyisibwemu emisituliro gy’emmeeza.
15 他用皂莢木做兩根槓,用金包裹,以便抬桌子;
N’akola emisituliro gy’emmeeza mu muti gwa akasiya, n’agibikkako zaabu.
16 又用精金做桌子上的器皿,就是盤子、調羹,並奠酒的瓶和爵。
N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa.
17 他用精金做一個燈臺;這燈臺的座和幹,與杯、球、花,都是接連一塊錘出來的。
Yakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
18 燈臺兩旁杈出六個枝子:這旁三個,那旁三個。
Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala.
19 這旁每枝上有三個杯,形狀像杏花,有球有花;那旁每枝上也有三個杯,形狀像杏花,有球有花。從燈臺杈出來的六個枝子都是如此。
Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna.
20 燈臺上有四個杯,形狀像杏花,有球有花。
Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako.
21 燈臺每兩個枝子以下有球,與枝子接連一塊;燈臺杈出的六個枝子都是如此。
Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna.
22 球和枝子是接連一塊,都是一塊精金錘出來的。
Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.
23 用精金做燈臺的七個燈盞,並燈臺的蠟剪和蠟花盤。
Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka.
24 他用精金一他連得做燈臺和燈臺的一切器具。
Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.
25 他用皂莢木做香壇,是四方的,長一肘,寬一肘,高二肘,壇的四角與壇接連一塊;
Yakola ekyoto, mu miti gy’akasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; n’obugulumivu bwa sentimita kyenda; n’amayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo.
26 又用精金把壇的上面與壇的四面並壇的四角包裹,又在壇的四圍鑲上金牙邊。
Ekyoto yakisiigako zaabu omuka kyonna, waggulu ne mu mbiriizi ne ku mayembe, n’akolerako omuge ogwa zaabu okukyebungulula.
27 做兩個金環,安在牙子邊以下,在壇的兩旁、兩根橫撐上,作為穿槓的用處,以便抬壇。
Wansi w’omuge mu mbiriizi z’ekyoto zombi, yakolerako empeta bbiri eza zaabu, okuyisangamu emisituliro gyakyo nga wabaddewo gye kitwalibwa.
28 用皂莢木做槓,用金包裹。
Emisituliro yagikola mu muti gwa akasiya, n’agisiigako zaabu.
29 又按做香之法做聖膏油和馨香料的淨香。
N’atabula amafuta amatukuvu ag’okwawula, n’ateekateeka obubaane obulongosebbwa ennyo, ng’abutabudde bulungi ng’omukugu mu byakaloosa bwe yandikoze.

< 出埃及記 37 >