< 出埃及記 26 >

1 「你要用十幅幔子做帳幕。這些幔子要用撚的細麻和藍色、紫色、朱紅色線製造,並用巧匠的手工繡上基路伯。
“Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi.
2 每幅幔子要長二十八肘,寬四肘,幔子都要一樣的尺寸。
Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
3 這五幅幔子要幅幅相連;那五幅幔子也要幅幅相連。
Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo.
4 在這相連的幔子末幅邊上要做藍色的鈕扣;在那相連的幔子末幅邊上也要照樣做。
Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri.
5 要在這相連的幔子上做五十個鈕扣;在那相連的幔子上也做五十個鈕扣,都要兩兩相對。
Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye.
6 又要做五十個金鉤,用鉤使幔子相連,這才成了一個帳幕。
Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.
7 「你要用山羊毛織十一幅幔子,作為帳幕以上的罩棚。
“Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema.
8 每幅幔子要長三十肘,寬四肘;十一幅幔子都要一樣的尺寸。
Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
9 要把五幅幔子連成一幅,又把六幅幔子連成一幅,這第六幅幔子要在罩棚的前面摺上去。
Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema.
10 在這相連的幔子末幅邊上要做五十個鈕扣;在那相連的幔子末幅邊上也做五十個鈕扣。
Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri.
11 又要做五十個銅鉤,鉤在鈕扣中,使罩棚連成一個。
Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba.
12 罩棚的幔子所餘那垂下來的半幅幔子,要垂在帳幕的後頭。
Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema.
13 罩棚的幔子所餘長的,這邊一肘,那邊一肘,要垂在帳幕的兩旁,遮蓋帳幕。
Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse.
14 又要用染紅的公羊皮做罩棚的蓋;再用海狗皮做一層罩棚上的頂蓋。
Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
15 「你要用皂莢木做帳幕的豎板。
“Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula.
16 每塊要長十肘,寬一肘半;
Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
17 每塊必有兩榫相對。帳幕一切的板都要這樣做。
Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ozikole bw’otyo.
18 帳幕的南面要做板二十塊。
Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema,
19 在這二十塊板底下要做四十個帶卯的銀座,兩卯接這塊板上的兩榫,兩卯接那塊板上的兩榫。
era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
20 帳幕第二面,就是北面,也要做板二十塊
Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema okolereyo embaawo amakumi abiri,
21 和帶卯的銀座四十個;這板底下有兩卯,那板底下也有兩卯。
n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo.
22 帳幕的後面,就是西面,要做板六塊。
Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema;
23 帳幕後面的拐角要做板兩塊。
era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo.
24 板的下半截要雙的,上半截要整的,直頂到第一個環子;兩塊都要這樣做兩個拐角。
Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta.
25 必有八塊板和十六個帶卯的銀座;這板底下有兩卯,那板底下也有兩卯。
Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.
26 「你要用皂莢木做閂:為帳幕這面的板做五閂,
“Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
27 為帳幕那面的板做五閂,又為帳幕後面的板做五閂。
ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba.
28 板腰間的中閂要從這一頭通到那一頭。
Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
29 板要用金子包裹,又要做板上的金環套閂;閂也要用金子包裹。
Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu.
30 要照着在山上指示你的樣式立起帳幕。
Eweema onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.
31 「你要用藍色、紫色、朱紅色線,和撚的細麻織幔子,以巧匠的手工繡上基路伯。
“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi.
32 要把幔子掛在四根包金的皂莢木柱子上,柱子上當有金鉤,柱子安在四個帶卯的銀座上。
Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza.
33 要使幔子垂在鉤子下,把法櫃抬進幔子內;這幔子要將聖所和至聖所隔開。
Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
34 又要把施恩座安在至聖所內的法櫃上,
Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo.
35 把桌子安在幔子外帳幕的北面;把燈臺安在帳幕的南面,彼此相對。
Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.
36 「你要拿藍色、紫色、朱紅色線,和撚的細麻,用繡花的手工織帳幕的門簾。
“Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi.
37 要用皂莢木為簾子做五根柱子,用金子包裹。柱子上當有金鉤;又要為柱子用銅鑄造五個帶卯的座。」
Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”

< 出埃及記 26 >