< 以斯帖記 10 >
Kabaka Akaswero n’asalira abantu bonna ab’obwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu n’abo abaabeeranga ku bizinga.
2 他以權柄能力所行的,並他抬舉末底改使他高升的事,豈不都寫在米底亞和波斯王的歷史上嗎?
Era ebikolwa bye byonna eby’obuyinza n’amaanyi ge, n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi.
3 猶大人末底改作亞哈隨魯王的宰相,在猶大人中為大,得他眾弟兄的喜悅,為本族的人求好處,向他們說和平的話。
Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.