< 以弗所書 1 >
1 奉上帝旨意,作基督耶穌使徒的保羅,寫信給在以弗所的聖徒,就是在基督耶穌裏有忠心的人。
Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.
2 願恩惠、平安從上帝我們的父和主耶穌基督歸與你們!
Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
3 願頌讚歸與我們主耶穌基督的父上帝!他在基督裏曾賜給我們天上各樣屬靈的福氣:
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu.
4 就如上帝從創立世界以前,在基督裏揀選了我們,使我們在他面前成為聖潔,無有瑕疵;
Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.
5 又因愛我們,就按着自己的意旨所喜悅的,預定我們藉着耶穌基督得兒子的名分,
Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli.
6 使他榮耀的恩典得着稱讚;這恩典是他在愛子裏所賜給我們的。
Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.
7 我們藉這愛子的血得蒙救贖,過犯得以赦免,乃是照他豐富的恩典。
Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,
8 這恩典是上帝用諸般智慧聰明,充充足足賞給我們的;
kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna.
9 都是照他自己所預定的美意,叫我們知道他旨意的奧祕,
Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo.
10 要照所安排的,在日期滿足的時候,使天上、地上、一切所有的都在基督裏面同歸於一。
Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.
11 我們也在他裏面得了基業;這原是那位隨己意行、做萬事的,照着他旨意所預定的,
Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe;
12 叫他的榮耀從我們這首先在基督裏有盼望的人可以得着稱讚。
ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo.
13 你們既聽見真理的道,就是那叫你們得救的福音,也信了基督,既然信他,就受了所應許的聖靈為印記。
Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa,
14 這聖靈是我們得基業的憑據,直等到上帝之民被贖,使他的榮耀得着稱讚。
gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna,
16 就為你們不住地感謝上帝。禱告的時候,常提到你們,
sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira
17 求我們主耶穌基督的上帝,榮耀的父,將那賜人智慧和啟示的靈賞給你們,使你們真知道他,
ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
18 並且照明你們心中的眼睛,使你們知道他的恩召有何等指望,他在聖徒中得的基業有何等豐盛的榮耀;
Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna.
19 並知道他向我們這信的人所顯的能力是何等浩大,
Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli,
20 就是照他在基督身上所運行的大能大力,使他從死裏復活,叫他在天上坐在自己的右邊,
amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu.
21 遠超過一切執政的、掌權的、有能的、主治的,和一切有名的;不但是今世的,連來世的也都超過了。 (aiōn )
Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. (aiōn )
22 又將萬有服在他的腳下,使他為教會作萬有之首。
Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa,
era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.