< 傳道書 8 >
1 誰如智慧人呢? 誰知道事情的解釋呢? 人的智慧使他的臉發光, 並使他臉上的暴氣改變。
Ani afaanana omuntu omugezi amanyi okunnyonnyola buli kintu? Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu, ne gakyusa emitaafu gyamu.
Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira mu maaso ga Katonda.
3 不要急躁離開王的面前,不要固執行惡,因為他凡事都隨自己的心意而行。
Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala.
Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”
5 凡遵守命令的,必不經歷禍患;智慧人的心能辨明時候和定理。
Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi, omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
6 各樣事務成就都有時候和定理,因為人的苦難重壓在他身上。
Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu, newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.
7 他不知道將來的事,因為將來如何,誰能告訴他呢?
Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo, kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
8 無人有權力掌管生命,將生命留住;也無人有權力掌管死期;這場爭戰,無人能免;邪惡也不能救那好行邪惡的人。
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo; bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe. Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo, bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.
9 這一切我都見過,也專心查考日光之下所做的一切事。有時這人管轄那人,令人受害。
Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka.
10 我見惡人埋葬,歸入墳墓;又見行正直事的離開聖地,在城中被人忘記。這也是虛空。
Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.
Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi.
12 罪人雖然作惡百次,倒享長久的年日;然而我準知道,敬畏上帝的,就是在他面前敬畏的人,終久必得福樂。
Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.
13 惡人卻不得福樂,也不得長久的年日;這年日好像影兒,因他不敬畏上帝。
Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.
14 世上有一件虛空的事,就是義人所遭遇的,反照惡人所行的;又有惡人所遭遇的,反照義人所行的。我說,這也是虛空。
Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu.
15 我就稱讚快樂,原來人在日光之下,莫強如吃喝快樂;因為他在日光之下,上帝賜他一生的年日,要從勞碌中,時常享受所得的。
Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
16 我專心求智慧,要看世上所做的事。(有晝夜不睡覺不合眼的。)
Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro.
17 我就看明上帝一切的作為,知道人查不出日光之下所做的事;任憑他費多少力尋查,都查不出來,就是智慧人雖想知道,也是查不出來。
Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.