< 傳道書 5 >
1 你到上帝的殿要謹慎腳步;因為近前聽,勝過愚昧人獻祭,他們本不知道所做的是惡。
Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.
2 你在上帝面前不可冒失開口,也不可心急發言;因為上帝在天上,你在地下,所以你的言語要寡少。
Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ng’ate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto, n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
4 你向上帝許願,償還不可遲延,因他不喜悅愚昧人,所以你許的願應當償還。
Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.
Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.
6 不可任你的口使肉體犯罪,也不可在祭司面前說是錯許了。為何使上帝因你的聲音發怒,敗壞你手所做的呢?
Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?
Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
8 你若在一省之中見窮人受欺壓,並奪去公義公平的事,不要因此詫異;因有一位高過居高位的鑒察,在他們以上還有更高的。
Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.
Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
10 貪愛銀子的,不因得銀子知足;貪愛豐富的,也不因得利益知足。這也是虛空。
Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba: na kino nakyo butaliimu.
11 貨物增添,吃的人也增添,物主得甚麼益處呢?不過眼看而已!
Ebintu nga bwe byeyongera obungi, n’ababirya gye bakoma okweyongera. Kale nnyini byo agasibwa ki, okuggyako okusanyusa amaaso ge?
12 勞碌的人不拘吃多吃少,睡得香甜;富足人的豐滿卻不容他睡覺。
Otulo tuwoomera omupakasi ne bw’aba agabana bitono oba bingi. Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde, tebumuganya kwebaka.
13 我見日光之下有一宗大禍患,就是財主積存資財,反害自己。
Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba: nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14 因遭遇禍患,這些資財就消滅;那人若生了兒子,手裏也一無所有。
ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula, kale bw’aba ne mutabani tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 他怎樣從母胎赤身而來,也必照樣赤身而去;他所勞碌得來的,手中分毫不能帶去。
Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu, bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi. Tewali ky’aggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
16 他來的情形怎樣,他去的情形也怎樣。這也是一宗大禍患。他為風勞碌有甚麼益處呢?
Na kino kya bulumi bwereere: nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda; mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 並且他終身在黑暗中吃喝,多有煩惱,又有病患嘔氣。
Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike, ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
18 我所見為善為美的,就是人在上帝賜他一生的日子吃喝,享受日光之下勞碌得來的好處,因為這是他的分。
Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.
19 上帝賜人資財豐富,使他能以吃用,能取自己的分,在他勞碌中喜樂,這乃是上帝的恩賜。
Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
20 他不多思念自己一生的年日,因為上帝應他的心使他喜樂。
Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.