< 申命記 3 >

1 「以後,我們轉回,向巴珊去。巴珊王噩和他的眾民都出來,在以得來與我們交戰。
Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei.
2 耶和華對我說:『不要怕他!因我已將他和他的眾民,並他的地,都交在你手中;你要待他像從前待住希實本的亞摩利王西宏一樣。』
Naye Mukama n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”
3 於是耶和華-我們的上帝也將巴珊王噩和他的眾民都交在我們手中;我們殺了他們,沒有留下一個。
Bw’atyo Mukama Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu.
4 那時,我們奪了他所有的城,共有六十座,沒有一座城不被我們所奪。這為亞珥歌伯的全境,就是巴珊地噩王的國。
Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5 這些城都有堅固的高牆,有門有閂。此外還有許多無城牆的鄉村。
Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge.
6 我們將這些都毀滅了,像從前待希實本王西宏一樣,把有人煙的各城,連女人帶孩子,盡都毀滅;
Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna.
7 惟有一切牲畜和城中的財物都取為自己的掠物。
Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
8 那時,我們從約旦河東兩個亞摩利王的手將亞嫩谷直到黑門山之地奪過來(
Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni.
9 這黑門山,西頓人稱為西連,亞摩利人稱為示尼珥),
Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri.
10 就是奪了平原的各城、基列全地、巴珊全地,直到撒迦和以得來,都是巴珊王噩國內的城邑。(
Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani.
11 利乏音人所剩下的只有巴珊王噩。他的床是鐵的,長九肘,寬四肘,都是以人肘為度。現今豈不是在亞捫人的拉巴嗎?)」
Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.
12 「那時,我們得了這地。從亞嫩谷邊的亞羅珥起,我將基列山地的一半,並其中的城邑,都給了呂便人和迦得人。
Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu.
13 其餘的基列地和巴珊全地,就是噩王的國,我給了瑪拿西半支派。亞珥歌伯全地乃是巴珊全地;這叫做利乏音人之地。
Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa.
14 瑪拿西的子孫睚珥佔了亞珥歌伯全境,直到基述人和瑪迦人的交界,就按自己的名稱這巴珊地為哈倭特‧睚珥,直到今日。
Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri.
15 我又將基列給了瑪吉。
Gireyaadi nagigabira Makiri.
16 從基列到亞嫩谷,以谷中為界,直到亞捫人交界的雅博河,我給了呂便人和迦得人,
Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni.
17 又將亞拉巴和靠近約旦河之地,從基尼烈直到亞拉巴海,就是鹽海,並毗斯迦山根東邊之地,都給了他們。
Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
18 「那時,我吩咐你們說:『耶和華-你們的上帝已將這地賜給你們為業;你們所有的勇士都要帶着兵器,在你們的弟兄以色列人前面過去。
Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani.
19 但你們的妻子、孩子、牲畜(我知道你們有許多的牲畜)可以住在我所賜給你們的各城裏。
Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi,
20 等到你們弟兄在約旦河那邊,也得耶和華-你們上帝所賜給他們的地,又使他們得享平安,與你們一樣,你們才可以回到我所賜給你們為業之地。』
okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
21 那時我吩咐約書亞說:『你親眼看見了耶和華-你上帝向這二王所行的;耶和華也必向你所要去的各國照樣行。
Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda.
22 你不要怕他們,因那為你爭戰的是耶和華-你的上帝。』」
Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”
23 「那時,我懇求耶和華說:
Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti,
24 『主耶和華啊,你已將你的大力大能顯給僕人看。在天上,在地下,有甚麼神能像你行事、像你有大能的作為呢?
“Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola?
25 求你容我過去,看約旦河那邊的美地,就是那佳美的山地和黎巴嫩。』
Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”
26 但耶和華因你們的緣故向我發怒,不應允我,對我說:『罷了!你不要向我再提這事。
Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo.
27 你且上毗斯迦山頂去,向東、西、南、北舉目觀望,因為你必不能過這約旦河。
Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.
28 你卻要囑咐約書亞,勉勵他,使他膽壯;因為他必在這百姓前面過去,使他們承受你所要觀看之地。』
Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.”
29 於是我們住在伯‧毗珥對面的谷中。」
Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.

< 申命記 3 >