< 申命記 14 >
1 「你們是耶和華-你們上帝的兒女。不可為死人用刀劃身,也不可將額上剃光;
Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa,
2 因為你歸耶和華-你上帝為聖潔的民,耶和華從地上的萬民中揀選你特作自己的子民。」
kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.
Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo.
Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi,
enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko.
Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu.
7 但那些倒嚼或是分蹄之中不可吃的乃是駱駝、觠子、沙番-因為是倒嚼不分蹄,就與你們不潔淨;
Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli.
8 豬-因為是分蹄卻不倒嚼,就與你們不潔淨。這些獸的肉,你們不可吃,死的也不可摸。
Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.
Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba.
Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.
Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga.
Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi,
wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye,
namuŋŋoona owa buli ngeri;
ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo,
ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu;
n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo;
ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira.
Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga.
Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.
21 「凡自死的,你們都不可吃,可以給你城裏寄居的吃,或賣與外人吃,因為你是歸耶和華-你上帝為聖潔的民。 「不可用山羊羔母的奶煮山羊羔。」
Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako.
22 「你要把你撒種所產的,就是你田地每年所出的,十分取一分;
Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi.
23 又要把你的五穀、新酒、和油的十分之一,並牛群羊群中頭生的,吃在耶和華-你上帝面前,就是他所選擇要立為他名的居所。這樣,你可以學習時常敬畏耶和華-你的上帝。
Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo.
24 當耶和華-你上帝賜福與你的時候,耶和華-你上帝所選擇要立為他名的地方若離你太遠,那路也太長,使你不能把這物帶到那裏去,
Naye Mukama ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo,
25 你就可以換成銀子,將銀子包起來,拿在手中,往耶和華-你上帝所要選擇的地方去。
kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera.
26 你用這銀子,隨心所欲,或買牛羊,或買清酒濃酒,凡你心所想的都可以買;你和你的家屬在耶和華-你上帝的面前吃喝快樂。
Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka.
27 「住在你城裏的利未人,你不可丟棄他,因為他在你們中間無分無業。
Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.
28 每逢三年的末一年,你要將本年的土產十分之一都取出來,積存在你的城中。
Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo.
29 在你城裏無分無業的利未人,和你城裏寄居的,並孤兒寡婦,都可以來,吃得飽足。這樣,耶和華-你的上帝必在你手裏所辦的一切事上賜福與你。」
Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.