< 撒母耳記下 1 >

1 掃羅死後,大衛擊殺亞瑪力人回來,在洗革拉住了兩天。
Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki.
2 第三天,有一人從掃羅的營裏出來,衣服撕裂,頭蒙灰塵,到大衛面前伏地叩拜。
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
3 大衛問他說:「你從哪裏來?」他說:「我從以色列的營裏逃來。」
Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.”
4 大衛又問他說:「事情怎樣?請你告訴我。」他回答說:「百姓從陣上逃跑,也有許多人仆倒死亡;掃羅和他兒子約拿單也死了。」
Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
5 大衛問報信的少年人說:「你怎麼知道掃羅和他兒子約拿單死了呢?」
Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
6 報信的少年人說:「我偶然到基利波山,看見掃羅伏在自己槍上,有戰車、馬兵緊緊地追他。
Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca.
7 他回頭看見我,就呼叫我。我說:『我在這裏。』
Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
8 他問我說:『你是甚麼人?』我說:『我是亞瑪力人。』
“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ “Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
9 他說:『請你來,將我殺死;因為痛苦抓住我,我的生命尚存。』
“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
10 我準知他仆倒必不能活,就去將他殺死,把他頭上的冠冕、臂上的鐲子拿到我主這裏。」
“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
11 大衛就撕裂衣服,跟隨他的人也是如此,
Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe.
12 而且悲哀哭號,禁食到晚上,是因掃羅和他兒子約拿單,並耶和華的民以色列家的人,倒在刀下。
Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala.
13 大衛問報信的少年人說:「你是哪裏的人?」他說:「我是亞瑪力客人的兒子。」
Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.”
14 大衛說:「你伸手殺害耶和華的受膏者,怎麼不畏懼呢?」
Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?”
15 大衛叫了一個少年人來,說:「你去殺他吧!」
Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta.
16 大衛對他說:「你流人血的罪歸到自己的頭上,因為你親口作見證說:『我殺了耶和華的受膏者。』」少年人就把他殺了。
Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’”
17 大衛作哀歌,弔掃羅和他兒子約拿單,
Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we,
18 且吩咐將這歌教導猶大人。這歌名叫「弓歌」,寫在雅煞珥書上。
n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
19 歌中說:以色列啊, 你尊榮者在山上被殺! 大英雄何竟死亡!
“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo! Ab’amaanyi nga bagudde!
20 不要在迦特報告; 不要在亞實基倫街上傳揚; 免得非利士的女子歡樂; 免得未受割禮之人的女子矜誇。
“Temukyogeranga mu Gaasi, temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni, abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka, abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.
21 基利波山哪,願你那裏沒有雨露! 願你田地無土產可作供物! 因為英雄的盾牌在那裏被污丟棄; 掃羅的盾牌彷彿未曾抹油。
“Mmwe ensozi za Girubowa, muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba, newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo. Kubanga eyo engabo ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 約拿單的弓箭非流敵人的血不退縮; 掃羅的刀劍非剖勇士的油不收回。
Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu, olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga, n’amasavu g’ab’amaanyi.
23 掃羅和約拿單- 活時相悅相愛,死時也不分離 -他們比鷹更快,比獅子還強。
“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
24 以色列的女子啊,當為掃羅哭號! 他曾使你們穿朱紅色的美衣, 使你們衣服有黃金的妝飾。
“Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo, eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima, eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.
25 英雄何竟在陣上仆倒! 約拿單何竟在山上被殺!
“Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 我兄約拿單哪,我為你悲傷! 我甚喜悅你! 你向我發的愛情奇妙非常, 過於婦女的愛情。
Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani, kubanga wali mukwano gwange ddala. Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo, nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
27 英雄何竟仆倒! 戰具何竟滅沒!
“Ab’amaanyi nga bagudde, n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

< 撒母耳記下 1 >