< 列王紀下 24 >

1 約雅敬年間,巴比倫王尼布甲尼撒上到 猶大;約雅敬服事他三年,然後背叛他。
Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza.
2 耶和華使迦勒底軍、亞蘭軍、摩押軍,和亞捫人的軍來攻擊約雅敬,毀滅猶大,正如耶和華藉他僕人眾先知所說的。
Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali.
3 這禍臨到猶大人,誠然是耶和華所命的,要將他們從自己面前趕出,是因瑪拿西所犯的一切罪;
Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola,
4 又因他流無辜人的血,充滿了耶路撒冷;耶和華決不肯赦免。
ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
5 約雅敬其餘的事,凡他所行的都寫在猶大列王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
6 約雅敬與他列祖同睡。他兒子約雅斤接續他作王。
Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka.
7 埃及王不再從他國中出來;因為巴比倫王將埃及王所管之地,從埃及小河直到幼發拉底河都奪去了。
Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
8 約雅斤登基的時候年十八歲,在耶路撒冷作王三個月。他母親名叫尼護施她,是耶路撒冷人以利拿單的女兒。
Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi.
9 約雅斤行耶和華眼中看為惡的事,效法他父親一切所行的。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
10 那時,巴比倫王尼布甲尼撒的軍兵上到耶路撒冷,圍困城。
Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa.
11 當他軍兵圍困城的時候,巴比倫王尼布甲尼撒就親自來了。
Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza.
12 猶大王約雅斤和他母親、臣僕、首領、太監一同出城,投降巴比倫王;巴比倫王便拿住他。那時是巴比倫王第八年。
Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.
13 巴比倫王將耶和華殿和王宮裏的寶物都拿去了,將以色列王所羅門所造耶和華殿裏的金器都毀壞了,正如耶和華所說的;
Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira.
14 又將耶路撒冷的眾民和眾首領,並所有大能的勇士,共一萬人,連一切木匠、鐵匠都擄了去;除了國中極貧窮的人以外,沒有剩下的;
N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
15 並將約雅斤和王母、后妃、太監,與國中的大官,都從耶路撒冷擄到巴比倫去了;
Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi.
16 又將一切勇士七千人和木匠、鐵匠一千人,都是能上陣的勇士,全擄到巴比倫去了。
Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe.
17 巴比倫王立約雅斤的叔叔瑪探雅代替他作王,給瑪探雅改名叫西底家。
Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.
18 西底家登基的時候年二十一歲,在耶路撒冷作王十一年。他母親名叫哈慕她,是立拿人耶利米的女兒。
Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
19 西底家行耶和華眼中看為惡的事,是照約雅敬一切所行的。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola.
20 因此耶和華的怒氣在耶路撒冷和猶大發作,以致將人民從自己面前趕出。
Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge. Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

< 列王紀下 24 >