< 列王紀下 2 >

1 耶和華要用旋風接以利亞升天的時候,以利亞與以利沙從吉甲前往。
Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali,
2 以利亞對以利沙說:「耶和華差我往伯特利去,你可以在這裏等候。」以利沙說:「我指着永生的耶和華,又敢在你面前起誓,我必不離開你。」於是二人下到伯特利。
Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e BeseriMukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne baserengeta bonna e Beseri.
3 住伯特利的先知門徒出來見以利沙,對他說:「耶和華今日要接你的師傅離開你,你知道不知道?」他說:「我知道,你們不要作聲。」
Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
4 以利亞對以利沙說:「耶和華差遣我往耶利哥去,你可以在這裏等候。」以利沙說:「我指着永生的耶和華,又敢在你面前起誓,我必不離開你。」於是二人到了耶利哥。
Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
5 住耶利哥的先知門徒就近以利沙,對他說:「耶和華今日要接你的師傅離開你,你知道不知道?」他說:「我知道,你們不要作聲。」
Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
6 以利亞對以利沙說:「耶和華差遣我往約旦河去,你可以在這裏等候。」以利沙說:「我指着永生的耶和華,又敢在你面前起誓,我必不離開你。」於是二人一同前往。
Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne batambula bombi.
7 有先知門徒去了五十人,遠遠地站在他們對面;二人在約旦河邊站住。
Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani.
8 以利亞將自己的外衣捲起來,用以打水,水就左右分開,二人走乾地而過。
Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.
9 過去之後,以利亞對以利沙說:「我未曾被接去離開你,你要我為你做甚麼,只管求我。」以利沙說:「願感動你的靈加倍地感動我。」
Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.”
10 以利亞說:「你所求的難得。雖然如此,我被接去離開你的時候,你若看見我,就必得着;不然,必得不着了。」
N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.”
11 他們正走着說話,忽有火車火馬將二人隔開,以利亞就乘旋風升天去了。
Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi.
12 以利沙看見,就呼叫說:「我父啊!我父啊!以色列的戰車馬兵啊!」以後不再見他了。 於是以利沙把自己的衣服撕為兩片。
Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
13 他拾起以利亞身上掉下來的外衣,回去站在約旦河邊。
Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga.
14 他用以利亞身上掉下來的外衣打水,說:「耶和華-以利亞的上帝在哪裏呢?」打水之後,水也左右分開,以利沙就過來了。
N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.
15 住耶利哥的先知門徒從對面看見他,就說:「感動以利亞的靈感動以利沙了。」他們就來迎接他,在他面前俯伏於地,
Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira.
16 對他說:「僕人們這裏有五十個壯士,求你容他們去尋找你師傅,或者耶和華的靈將他提起來,投在某山某谷。」以利沙說:「你們不必打發人去。」
Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.” Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
17 他們再三催促他,他難以推辭,就說:「你們打發人去吧!」他們便打發五十人去,尋找了三天,也沒有找着。
Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba.
18 以利沙仍然在耶利哥等候他們回到他那裏;他對他們說:「我豈沒有告訴你們不必去嗎?」
Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”
19 耶利哥城的人對以利沙說:「這城的地勢美好,我主看見了;只是水惡劣,土產不熟而落。」
Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.”
20 以利沙說:「你們拿一個新瓶來,裝鹽給我」;他們就拿來給他。
N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera.
21 他出到水源,將鹽倒在水中,說:「耶和華如此說:『我治好了這水,從此必不再使人死,也不再使地土不生產。』」
N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’”
22 於是那水治好了,直到今日,正如以利沙所說的。
Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
23 以利沙從那裏上伯特利去,正上去的時候,有些童子從城裏出來,戲笑他說:「禿頭的上去吧!禿頭的上去吧!」
Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”
24 他回頭看見,就奉耶和華的名咒詛他們。於是有兩個母熊從林中出來,撕裂他們中間四十二個童子。
N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo.
25 以利沙從伯特利上迦密山,又從迦密山回到撒馬利亞。
Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya.

< 列王紀下 2 >