< 列王紀下 19 >

1 希西家王聽見,就撕裂衣服,披上麻布,進了耶和華的殿;
Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama.
2 使家宰以利亞敬和書記舍伯那,並祭司中的長老,都披上麻布,去見亞摩斯的兒子先知以賽亞,
N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3 對他說:「希西家如此說:『今日是急難、責罰、凌辱的日子,就如婦人將要生產嬰孩,卻沒有力量生產。
Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala.
4 或者耶和華-你的上帝聽見拉伯沙基的一切話,就是他主人亞述王打發他來辱罵永生上帝的話,耶和華-你的上帝聽見這話,就發斥責。故此,求你為餘剩的民揚聲禱告。』」
Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 希西家王的臣僕就去見以賽亞。
Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya,
6 以賽亞對他們說:「要這樣對你們的主人說,耶和華如此說:『你聽見亞述王的僕人褻瀆我的話,不要懼怕。
Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
7 我必驚動他的心,他要聽見風聲就歸回本地。我必使他在那裏倒在刀下。』」
Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’”
8 拉伯沙基回去,正遇見亞述王攻打立拿,原來他早聽見亞述王拔營離開拉吉。
Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.
9 亞述王聽見人論古實王特哈加說:「他出來要與你爭戰。」於是亞述王又打發使者去見希西家,吩咐他們說:
Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti,
10 「你們對猶大王希西家如此說:『不要聽你所倚靠的上帝欺哄你,說耶路撒冷必不交在亞述王的手中。
“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
11 你總聽說亞述諸王向列國所行的,乃是盡行滅絕,難道你還能得救嗎?
Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa?
12 我列祖所毀滅的,就是歌散、哈蘭、利色,和屬提‧拉撒的伊甸人,這些國的神何曾拯救這些國呢?
Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola?
13 哈馬的王、亞珥拔的王、西法瓦音城的王、希拿,和以瓦的王都在哪裏呢?』」
Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”
14 希西家從使者手裏接過書信來,看完了,就上耶和華的殿,將書信在耶和華面前展開。
Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15 希西家向耶和華禱告說:「坐在二基路伯上耶和華-以色列的上帝啊,你是天下萬國的上帝,你曾創造天地。
Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi.
16 耶和華啊,求你側耳而聽!耶和華啊,求你睜眼而看!要聽西拿基立打發使者來辱罵永生上帝的話。
Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.
17 耶和華啊,亞述諸王果然使列國和列國之地變為荒涼,
“Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe,
18 將列國的神像都扔在火裏;因為它本不是神,乃是人手所造的,是木頭石頭的,所以滅絕它。
ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa.
19 耶和華-我們的上帝啊,現在求你救我們脫離亞述王的手,使天下萬國都知道惟獨你-耶和華是上帝!」
Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”
20 亞摩斯的兒子以賽亞就打發人去見希西家,說:「耶和華-以色列的上帝如此說:『你既然求我攻擊亞述王西拿基立,我已聽見了。』
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.
21 耶和華論他這樣說: 錫安的處女藐視你,嗤笑你; 耶路撒冷的女子向你搖頭。
Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako: “‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
22 你辱罵誰?褻瀆誰? 揚起聲來,高舉眼目攻擊誰呢? 乃是攻擊以色列的聖者!
Ani gw’ovumye era n’ovvoola? Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo, era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala? Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 你藉你的使者辱罵主, 並說:我率領許多戰車上山頂, 到黎巴嫩極深之處; 我要砍伐其中高大的香柏樹和佳美的松樹; 我必上極高之處,進入肥田的樹林。
Ojereze Mukama ng’oyita mu babaka bo. Era ogambye nti, “Nninye ku ntikko z’ensozi n’amagaali gange amangi, ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni. Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi. Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 我已經在外邦挖井喝水; 我必用腳掌踏乾埃及的一切河。
Nsimye enzizi mu bannamawanga, n’enywa amazzi gaamu. Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna, nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”
25 耶和華說,我早先所做的, 古時所立的,就是現在藉你 使堅固城荒廢,變為亂堆, 這事你豈沒有聽見嗎?
“‘Tewawulira nga nakisalawo dda? Mu biro eby’edda nakiteekateeka, era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 所以其中的居民力量甚小, 驚惶羞愧。 他們像野草,像青菜, 如房頂上的草, 又如未長成而枯乾的禾稼。
Ababituulamu tebakyalina buyinza, batekemuse era baswazibbwa. Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro, ng’omuddo omubisi, ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba, ne gutugibwa nga tegunnakula.
27 你坐下,你出去,你進來, 你向我發烈怒,我都知道。
“‘Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo n’obuswandi bw’ondaga.
28 因你向我發烈怒, 又因你狂傲的話達到我耳中, 我就要用鉤子鉤上你的鼻子, 把嚼環放在你口裏, 使你從你來的路轉回去。
Kubanga ondaze obuswandi bwo, n’obujoozi bwo ne mbuwulira mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n’olukoba lwange mu mumwa gwo, era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’
29 「以色列人哪,我賜你們一個證據:你們今年要吃自生的,明年也要吃自長的;至於後年,你們要耕種收割,栽植葡萄園,吃其中的果子。
“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya. “Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo. Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule; era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 猶大家所逃脫餘剩的,仍要往下扎根,向上結果。
Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 必有餘剩的民從耶路撒冷而出;必有逃脫的人從錫安山而來。耶和華的熱心必成就這事。
Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona. Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.
32 「所以,耶和華論亞述王如此說:『他必不得來到這城,也不在這裏射箭,不得拿盾牌到城前,也不築壘攻城。
“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti, “‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino, wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 他從哪條路來,必從那條路回去,必不得來到這城。這是耶和華說的。
Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira, naye taliyingira mu kibuga kino, bw’ayogera Mukama.
34 因我為自己的緣故,又為我僕人大衛的緣故,必保護拯救這城。』」
Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole, ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’”
35 當夜,耶和華的使者出去,在亞述營中殺了十八萬五千人。清早有人起來,一看,都是死屍了。
Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.
36 亞述王西拿基立就拔營回去,住在尼尼微。
Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.
37 一日在他的神尼斯洛廟裏叩拜,他兒子亞得米勒和沙利色用刀殺了他,就逃到亞拉臘地。他兒子以撒哈頓接續他作王。
Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.

< 列王紀下 19 >