< 列王紀下 17 >
1 猶大王亞哈斯十二年,以拉的兒子何細亞在撒馬利亞登基作以色列王九年。
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda.
2 他行耶和華眼中看為惡的事,只是不像在他以前的以色列諸王。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
3 亞述王撒縵以色上來攻擊何細亞,何細亞就服事他,給他進貢。
Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu.
4 何細亞背叛,差人去見埃及王梭,不照往年所行的與亞述王進貢。亞述王知道了,就把他鎖禁,囚在監裏。
Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera.
5 亞述王上來攻擊以色列遍地,上到撒馬利亞,圍困三年。
Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu.
6 何細亞第九年亞述王攻取了撒馬利亞,將以色列人擄到亞述,把他們安置在哈臘與歌散的哈博河邊,並米底亞人的城邑。
Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
7 這是因以色列人得罪那領他們出埃及地、脫離埃及王法老手的耶和華-他們的上帝,去敬畏別神,
Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala,
8 隨從耶和華在他們面前所趕出外邦人的風俗和以色列諸王所立的條規。
ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo.
9 以色列人暗中行不正的事,違背耶和華-他們的上帝,在他們所有的城邑,從瞭望樓直到堅固城,建築邱壇;
Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.
Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti.
11 在邱壇上燒香,效法耶和華在他們面前趕出的外邦人所行的,又行惡事惹動耶和華的怒氣;
Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama.
Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.”
13 但耶和華藉眾先知、先見勸戒以色列人和猶大人說:「當離開你們的惡行,謹守我的誡命律例,遵行我吩咐你們列祖,並藉我僕人眾先知所傳給你們的律法。」
Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
14 他們卻不聽從,竟硬着頸項,效法他們列祖,不信服耶和華-他們的上帝,
Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe.
15 厭棄他的律例和他與他們列祖所立的約,並勸戒他們的話,隨從虛無的神,自己成為虛妄,效法周圍的外邦人,就是耶和華囑咐他們不可效法的;
Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
16 離棄耶和華-他們上帝的一切誡命,為自己鑄了兩個牛犢的像,立了亞舍拉,敬拜天上的萬象,事奉巴力,
Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali.
17 又使他們的兒女經火,用占卜,行法術賣了自己,行耶和華眼中看為惡的事,惹動他的怒氣。
Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
18 所以耶和華向以色列人大大發怒,從自己面前趕出他們,只剩下猶大一個支派。
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.
19 猶大人也不遵守耶和華-他們上帝的誡命,隨從以色列人所立的條規。
Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri.
20 耶和華就厭棄以色列全族,使他們受苦,把他們交在搶奪他們的人手中,以致趕出他們離開自己面前,
Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
21 將以色列國從大衛家奪回;他們就立尼八的兒子耶羅波安作王。耶羅波安引誘以色列人不隨從耶和華,陷在大罪裏。
Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo.
Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo,
23 以致耶和華從自己面前趕出他們,正如藉他僕人眾先知所說的。這樣,以色列人從本地被擄到亞述,直到今日。
okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
24 亞述王從巴比倫、古他、亞瓦、哈馬,和西法瓦音遷移人來,安置在撒馬利亞的城邑,代替以色列人;他們就得了撒馬利亞,住在其中。
Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo.
25 他們才住那裏的時候,不敬畏耶和華,所以耶和華叫獅子進入他們中間,咬死了些人。
Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma ne zitta abamu ku bo.
26 有人告訴亞述王說:「你所遷移安置在撒馬利亞各城的那些民,不知道那地之神的規矩,所以那神叫獅子進入他們中間,咬死他們。」
Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo, kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
27 亞述王就吩咐說:「叫所擄來的祭司回去一個,使他住在那裏,將那地之神的規矩指教那些民。」
Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.”
28 於是有一個從撒馬利亞擄去的祭司回來,住在伯特利,指教他們怎樣敬畏耶和華。
Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
29 然而,各族之人在所住的城裏各為自己製造神像,安置在撒馬利亞人所造有邱壇的殿中。
Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe.
30 巴比倫人造疏割‧比訥像;古他人造匿甲像;哈馬人造亞示瑪像;
Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima:
31 亞瓦人造匿哈和他珥他像;西法瓦音人用火焚燒兒女,獻給西法瓦音的神亞得米勒和亞拿米勒。
Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu.
32 他們懼怕耶和華,也從他們中間立邱壇的祭司,為他們在有邱壇的殿中獻祭。
Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu.
33 他們又懼怕耶和華,又事奉自己的神,從何邦遷移,就隨何邦的風俗。
Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.
34 他們直到如今仍照先前的風俗去行,不專心敬畏耶和華,不全守自己的規矩、典章,也不遵守耶和華吩咐雅各後裔的律法、誡命。(雅各,就是從前耶和華起名叫以色列的。)
Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri.
35 耶和華曾與他們立約,囑咐他們說:「不可敬畏別神,不可跪拜事奉他,也不可向他獻祭。
Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.
36 但那用大能和伸出來的膀臂領你們出埃及地的耶和華,你們當敬畏,跪拜,向他獻祭。
Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala.
37 他給你們寫的律例、典章、律法、誡命,你們應當永遠謹守遵行,不可敬畏別神。
Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye.
38 我-耶和華與你們所立的約你們不可忘記,也不可敬畏別神。
Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala.
39 但要敬畏耶和華-你們的上帝,他必救你們脫離一切仇敵的手。」
Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”
Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda.
41 如此這些民又懼怕耶和華,又事奉他們的偶像。他們子子孫孫也都照樣行,效法他們的祖宗,直到今日。
Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.