< 列王紀下 16 >
1 利瑪利的兒子比加十七年,猶大王約坦的兒子亞哈斯登基。
Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga.
2 他登基的時候年二十歲,在耶路撒冷作王十六年;不像他祖大衛行耶和華-他上帝眼中看為正的事,
Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi.
3 卻效法以色列諸王所行的,又照着耶和華從以色列人面前趕出的外邦人所行可憎的事,使他的兒子經火,
N’atambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era n’okuwaayo n’awaayo mutabani we ng’ekiweebwayo, ng’agoberera eby’emizizo eby’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri.
N’awangayo ssaddaaka, era n’ayoterezanga n’obubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.
5 亞蘭王利汛和以色列王利瑪利的兒子比加上來攻打耶路撒冷,圍困亞哈斯,卻不能勝他。
Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka, mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulumba Yerusaalemi ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula.
6 當時亞蘭王利汛收回以拉他歸與亞蘭,將猶大人從以拉他趕出去。亞蘭人就來到以拉他,住在那裏,直到今日。
Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli n’agoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi n’akiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.
7 亞哈斯差遣使者去見亞述王提革拉‧毗列色,說:「我是你的僕人、你的兒子。現在亞蘭王和以色列王攻擊我,求你來救我脫離他們的手。」
Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye.”
8 亞哈斯將耶和華殿裏和王宮府庫裏所有的金銀都送給亞述王為禮物。
Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli.
9 亞述王應允了他,就上去攻打大馬士革,將城攻取,殺了利汛,把居民擄到吉珥。
Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.
10 亞哈斯王上大馬士革去迎接亞述王提革拉‧毗列色,在大馬士革看見一座壇,就照壇的規模樣式作法畫了圖樣,送到祭司烏利亞那裏。
Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa.
11 祭司烏利亞照着亞哈斯王從大馬士革送來的圖樣,在亞哈斯王沒有從大馬士革回來之先,建築一座壇。
Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko.
12 王從大馬士革回來看見壇,就近前來,在壇上獻祭;
Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n’alaba ekyoto, n’akisemberera era ku kyo n’aweerako ssaddaaka.
13 燒燔祭、素祭、澆奠祭,將平安祭牲的血灑在壇上,
N’aweerayo ssaddaaka ey’ekyokebwa ne ssaddaaka ey’obutta n’ayiwako ne ssaddaaka ey’ekyokunywa, era n’amansirako omusaayi ogw’ebiweebwayo olw’emirembe ku kyoto.
14 又將耶和華面前的銅壇從耶和華殿和新壇的中間搬到新壇的北邊。
N’aggyawo ekyoto eky’ekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati w’ekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ekyoto kye.
15 亞哈斯王吩咐祭司烏利亞說:「早晨的燔祭、晚上的素祭,王的燔祭、素祭,國內眾民的燔祭、素祭、奠祭都要燒在大壇上。燔祭牲和平安祭牲的血也要灑在這壇上,只是銅壇我要用以求問耶和華。」
Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.”
Uliya kabona n’akola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira.
17 亞哈斯王打掉盆座四面鑲着的心子,把盆從座上挪下來,又將銅海從馱海的銅牛上搬下來,放在鋪石地;
Kabaka Akazi n’atemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani n’aziggya kwe zaabeeranga, ate n’aggya n’ennyanja okuva ku nte ennume ez’ekikomo, eza giwaniriranga, n’agiteeka ku mayinja amaliire.
18 又因亞述王的緣故,將耶和華殿為安息日所蓋的廊子和王從外入殿的廊子挪移,圍繞耶和華的殿。
N’aggyawo n’ekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era n’aggyawo n’ekkubo erya kabaka ery’ebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka w’e Bwasuli.
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu bufuzi Akazi, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
20 亞哈斯與他列祖同睡,葬在大衛城他列祖的墳地裏。他兒子希西家接續他作王。
Awo Akazi n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Keezeekiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.