< 列王紀下 15 >

1 以色列王耶羅波安二十七年,猶大王亞瑪謝的兒子亞撒利雅登基,
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda.
2 他登基的時候年十六歲,在耶路撒冷作王五十二年。他母親名叫耶可利雅,是耶路撒冷人。
Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi.
3 亞撒利雅行耶和華眼中看為正的事,效法他父親亞瑪謝一切所行的;
Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze.
4 只是邱壇還沒有廢去,百姓仍在那裏獻祭燒香。
Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.
5 耶和華降災與王,使他長大痲瘋,直到死日,他就住在別的宮裏。他的兒子約坦管理家事,治理國民。
Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala, ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
6 亞撒利雅其餘的事,凡他所行的都寫在猶大列王記上。
Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
7 亞撒利雅與他列祖同睡,葬在大衛城他列祖的墳地裏。他兒子約坦接續他作王。
Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
8 猶大王亞撒利雅三十八年,耶羅波安的兒子撒迦利雅在撒馬利亞作以色列王六個月。
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga.
9 他行耶和華眼中看為惡的事,效法他列祖所行的,不離開尼八的兒子耶羅波安使以色列人陷在罪裏的那罪。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
10 雅比的兒子沙龍背叛他,在百姓面前擊殺他,篡了他的位。
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka.
11 撒迦利雅其餘的事都寫在以色列諸王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
12 這是從前耶和華應許耶戶說:「你的子孫必坐以色列的國位直到四代。」這話果然應驗了。
Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”
13 猶大王烏西雅三十九年,雅比的兒子沙龍登基在撒馬利亞作王一個月。
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya.
14 迦底的兒子米拿現從得撒上撒馬利亞,殺了雅比的兒子沙龍,篡了他的位。
Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye.
15 沙龍其餘的事和他背叛的情形都寫在以色列諸王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
16 那時米拿現從得撒起攻打提斐薩和其四境,擊殺城中一切的人,剖開其中所有的孕婦,都因他們沒有給他開城。
Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
17 猶大王亞撒利雅三十九年,迦底的兒子米拿現登基,在撒馬利亞作以色列王十年。
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
18 他行耶和華眼中看為惡的事,終身不離開尼八的兒子耶羅波安使以色列人陷在罪裏的那罪。
Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
19 亞述王普勒來攻擊以色列國,米拿現給他一千他連得銀子,請普勒幫助他堅定國位。
Awo Puli kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka.
20 米拿現向以色列一切大富戶索要銀子,使他們各出五十舍客勒,就給了亞述王。於是亞述王回去,不在國中停留。
Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
21 米拿現其餘的事,凡他所行的都寫在以色列諸王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
22 米拿現與他列祖同睡。他兒子比加轄接續他作王。
Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
23 猶大王亞撒利雅五十年,米拿現的兒子比加轄在撒馬利亞登基作以色列王二年。
Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri.
24 他行耶和華眼中看為惡的事,不離開尼八的兒子耶羅波安使以色列人陷在罪裏的那罪。
Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
25 比加轄的將軍、利瑪利的兒子比加背叛他,在撒馬利亞王宮裏的衛所殺了他。亞珥歌伯和亞利耶並基列的五十人幫助比加;比加擊殺他,篡了他的位。
Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.
26 比加轄其餘的事,凡他所行的都寫在以色列諸王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
27 猶大王亞撒利雅五十二年,利瑪利的兒子比加在撒馬利亞登基作以色列王二十年。
Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri.
28 他行耶和華眼中看為惡的事,不離開尼八的兒子耶羅波安使以色列人陷在罪裏的那罪。
Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
29 以色列王比加年間,亞述王提革拉‧毗列色來奪了以雲、亞伯‧伯‧瑪迦、亞挪、基低斯、夏瑣、基列、加利利,和拿弗他利全地,將這些地方的居民都擄到亞述去了。
Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.
30 烏西雅的兒子約坦二十年,以拉的兒子何細亞背叛利瑪利的兒子比加,擊殺他,篡了他的位。
Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 比加其餘的事,凡他所行的都寫在以色列諸王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
32 以色列王利瑪利的兒子比加第二年,猶大王烏西雅的兒子約坦登基。
Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda.
33 他登基的時候年二十五歲,在耶路撒冷作王十六年。他母親名叫耶路沙,是撒督的女兒。
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki.
34 約坦行耶和華眼中看為正的事,效法他父親烏西雅一切所行的;
N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola.
35 只是邱壇還沒有廢去,百姓仍在那裏獻祭燒香。約坦建立耶和華殿的上門。
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.
36 約坦其餘的事,凡他所行的都寫在猶大列王記上。
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
37 在那些日子,耶和華才使亞蘭王利汛和利瑪利的兒子比加去攻擊猶大。
Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya.
38 約坦與他列祖同睡,葬在他祖大衛城他列祖的墳地裏。他兒子亞哈斯接續他作王。
Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

< 列王紀下 15 >