< 哥林多後書 6 >

1 我們與上帝同工的,也勸你們不可徒受他的恩典。
Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.
2 因為他說:「在悅納的時候,我應允了你;在拯救的日子,我搭救了你。」看哪,現在正是悅納的時候!現在正是拯救的日子;
Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.
3 我們凡事都不叫人有妨礙,免得這職分被人毀謗;
Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa,
4 反倒在各樣的事上表明自己是上帝的用人,就如在許多的忍耐、患難、窮乏、困苦、
naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,
5 鞭打、監禁、擾亂、勤勞、警醒、不食、
ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba,
6 廉潔、知識、恆忍、恩慈、聖靈的感化、無偽的愛心、
ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa,
7 真實的道理、上帝的大能;仁義的兵器在左在右;
ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono,
8 榮耀、羞辱,惡名、美名;似乎是誘惑人的,卻是誠實的;
wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima.
9 似乎不為人所知,卻是人所共知的;似乎要死,卻是活着的;似乎受責罰,卻是不致喪命的;
Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa,
10 似乎憂愁,卻是常常快樂的;似乎貧窮,卻是叫許多人富足的;似乎一無所有,卻是樣樣都有的。
nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
11 哥林多人哪,我們向你們,口是張開的,心是寬宏的。
Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye.
12 你們狹窄,原不在乎我們,是在乎自己的心腸狹窄。
Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna.
13 你們也要照樣用寬宏的心報答我。我這話正像對自己的孩子說的。
Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.
14 你們和不信的原不相配,不要同負一軛。義和不義有甚麼相交呢?光明和黑暗有甚麼相通呢?
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
15 基督和彼列有甚麼相和呢?信主的和不信主的有甚麼相干呢?
Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza?
16 上帝的殿和偶像有甚麼相同呢?因為我們是永生上帝的殿,就如上帝曾說: 我要在他們中間居住, 在他們中間來往; 我要作他們的上帝; 他們要作我的子民。
Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 又說:你們務要從他們中間出來, 與他們分別; 不要沾不潔淨的物,我就收納你們。
Noolwekyo “muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bw’ayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”
18 我要作你們的父; 你們要作我的兒女。 這是全能的主說的。
Era “nnaabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

< 哥林多後書 6 >