< 歷代志下 7 >
1 所羅門祈禱已畢,就有火從天上降下來,燒盡燔祭和別的祭。耶和華的榮光充滿了殿;
Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu.
2 因耶和華的榮光充滿了耶和華殿,所以祭司不能進殿。
Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama.
3 那火降下、耶和華的榮光在殿上的時候,以色列眾人看見,就在鋪石地俯伏叩拜,稱謝耶和華說: 耶和華本為善, 他的慈愛永遠長存!
Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Awo kabaka n’abantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
5 所羅門王用牛二萬二千,羊十二萬獻祭。這樣,王和眾民為上帝的殿行奉獻之禮。
Kabaka Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ey’ente ezawera emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Awo kabaka n’abantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama.
6 祭司侍立,各供其職;利未人也拿着耶和華的樂器,就是大衛王造出來、藉利未人頌讚耶和華的。(他的慈愛永遠長存!)祭司在眾人面前吹號,以色列人都站立。
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira.
7 所羅門因他所造的銅壇容不下燔祭、素祭,和脂油,便將耶和華殿前院子當中分別為聖,在那裏獻燔祭和平安祭牲的脂油。
Sulemaani n’atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe kubanga ku kyoto eky’ekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa n’ebiweebwayo ebyobutta, n’ebitundu n’amasavu.
8 那時所羅門和以色列眾人,就是從哈馬口直到埃及小河,所有的以色列人都聚集成為大會,守節七日。
Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri.
9 第八日設立嚴肅會,行奉獻壇的禮七日,守節七日。
Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu.
10 七月二十三日,王遣散眾民;他們因見耶和華向大衛和所羅門與他民以色列所施的恩惠,就都心中喜樂,各歸各家去了。
Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.
11 所羅門造成了耶和華殿和王宮;在耶和華殿和王宮凡他心中所要做的,都順順利利地做成了。
Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka,
12 夜間耶和華向所羅門顯現,對他說:「我已聽了你的禱告,也選擇這地方作為祭祀我的殿宇。
Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.
13 我若使天閉塞不下雨,或使蝗蟲吃這地的出產,或使瘟疫流行在我民中,
“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli,
14 這稱為我名下的子民,若是自卑、禱告,尋求我的面,轉離他們的惡行,我必從天上垂聽,赦免他們的罪,醫治他們的地。
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.
16 現在我已選擇這殿,分別為聖,使我的名永在其中,我的眼、我的心也必常在那裏。
Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.
17 你若在我面前效法你父大衛所行的,遵行我一切所吩咐你的,謹守我的律例典章,
“Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange,
18 我就必堅固你的國位,正如我與你父大衛所立的約,說:『你的子孫必不斷人作以色列的王。』
ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’
19 「倘若你們轉去丟棄我指示你們的律例誡命,去事奉敬拜別神,
“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza,
20 我就必將以色列人從我賜給他們的地上拔出根來,並且我為己名所分別為聖的殿也必捨棄不顧,使他在萬民中作笑談,被譏誚。
ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna.
21 這殿雖然甚高,將來經過的人必驚訝說:『耶和華為何向這地和這殿如此行呢?』
Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
22 人必回答說:『是因此地的人離棄耶和華-他們列祖的上帝,就是領他們出埃及地的上帝,去親近別神,敬拜事奉他,所以耶和華使這一切災禍臨到他們。』」
Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’”