< 歷代志下 35 >

1 約西亞在耶路撒冷向耶和華守逾越節。正月十四日,就宰了逾越節的羊羔。
Awo Yosiya n’akwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gw’endiga, ogw’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
2 王分派祭司各盡其職,又勉勵他們辦耶和華殿中的事;
N’alonda bakabona mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwabwe, n’abakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama.
3 又對那歸耶和華為聖、教訓以色列人的利未人說:「你們將聖約櫃安放在以色列王大衛兒子所羅門建造的殿裏,不必再用肩扛抬。現在要事奉耶和華-你們的上帝,服事他的民以色列。
N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri,
4 你們應當按着宗族,照着班次,遵以色列王大衛和他兒子所羅門所寫的,自己預備。
mweteeketeeke ng’ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika.
5 要按着你們的弟兄,這民宗族的班次,站在聖所,每班中要利未宗族的幾個人。
“Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo.
6 要宰逾越節的羊羔,潔淨自己,為你們的弟兄預備了,好遵守耶和華藉摩西所吩咐的話。」
Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.”
7 約西亞從群畜中賜給在那裏所有的人民,綿羊羔和山羊羔三萬隻,牛三千隻,作逾越節的祭物;這都是出自王的產業中。
Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.
8 約西亞的眾首領也樂意將犧牲給百姓和祭司利未人;又有管理上帝殿的希勒家、撒迦利亞、耶歇將羊羔二千六百隻,牛三百隻,給祭司作逾越節的祭物。
Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu.
9 利未人的族長歌楠雅和他兩個兄弟示瑪雅、拿坦業,與哈沙比雅、耶利、約撒拔將羊羔五千隻,牛五百隻,給利未人作逾越節的祭物。
Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako.
10 這樣,供獻的事齊備了。祭司站在自己的地方,利未人按着班次站立,都是照王所吩咐的。
Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira.
11 利未人宰了逾越節的羊羔,祭司從他們手裏接過血來灑在壇上;利未人剝皮,
Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga.
12 將燔祭搬來,按着宗族的班次分給眾民,好照摩西書上所寫的,獻給耶和華;獻牛也是這樣。
Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente.
13 他們按着常例,用火烤逾越節的羊羔。別的聖物用鍋,用釜,用罐煮了,速速地送給眾民。
Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo.
14 然後為自己和祭司預備祭物;因為祭司亞倫的子孫獻燔祭和脂油,直到晚上。所以利未人為自己和祭司亞倫的子孫,預備祭物。
Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.
15 歌唱的亞薩之子孫,照着大衛、亞薩、希幔,和王的先見耶杜頓所吩咐的,站在自己的地位上。守門的看守各門,不用離開他們的職事,因為他們的弟兄利未人給他們預備祭物。
N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16 當日,供奉耶和華的事齊備了,就照約西亞王的吩咐守逾越節,獻燔祭在耶和華的壇上。
Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira.
17 當時在耶路撒冷的以色列人守逾越節,又守除酵節七日。
Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga ey’Okuyitako, ne bafumba n’embaga ey’Emigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu.
18 自從先知撒母耳以來,在以色列中沒有守過這樣的逾越節,以色列諸王也沒有守過,像約西亞、祭司、利未人、在那裏的猶大人,和以色列人,以及耶路撒冷居民所守的逾越節。
Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi.
19 這逾越節是約西亞作王十八年守的。
Embaga ey’Okuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogw’okufuga kwa Yosiya.
20 這事以後,約西亞修完了殿,有埃及王尼哥上來,要攻擊靠近幼發拉底河的迦基米施;約西亞出去抵擋他。
Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale.
21 他差遣使者來見約西亞,說:「猶大王啊,我與你何干?我今日來不是要攻擊你,乃是要攻擊與我爭戰之家,並且上帝吩咐我速行,你不要干預上帝的事,免得他毀滅你,因為上帝是與我同在。」
Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”
22 約西亞卻不肯轉去離開他,改裝要與他打仗,不聽從上帝藉尼哥之口所說的話,便來到米吉多平原爭戰。
Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.
23 弓箭手射中約西亞王。王對他的臣僕說:「我受了重傷,你拉我出陣吧!」
Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.”
24 他的臣僕扶他下了戰車,上了次車,送他到耶路撒冷,他就死了,葬在他列祖的墳墓裏。猶大人和耶路撒冷人都為他悲哀。
Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.
25 耶利米為約西亞作哀歌。所有歌唱的男女也唱哀歌,追悼約西亞,直到今日;而且在以色列中成了定例。這歌載在哀歌書上。
Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.
26 約西亞其餘的事和他遵着耶和華律法上所記而行的善事,
Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama,
27 並他自始至終所行的,都寫在以色列和猶大列王記上。
ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.

< 歷代志下 35 >