< 歷代志下 18 >

1 約沙法大有尊榮資財,就與亞哈結親。
Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu.
2 過了幾年,他下到撒馬利亞去見亞哈;亞哈為他和跟從他的人宰了許多牛羊,勸他與自己同去攻取基列的拉末。
Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi.
3 以色列王亞哈問猶大王約沙法說:「你肯同我去攻取基列的拉末嗎?」他回答說:「你我不分彼此,我的民與你的民一樣,必與你同去爭戰。」
Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.”
4 約沙法對以色列王說:「請你先求問耶和華。」
Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
5 於是以色列王招聚先知四百人,問他們說:「我們上去攻取基列的拉末可以不可以?」他們說:「可以上去,因為上帝必將那城交在王的手裏。」
Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.”
6 約沙法說:「這裏不是還有耶和華的先知,我們可以求問他嗎?」
Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”
7 以色列王對約沙法說:「還有一個人,是音拉的兒子米該雅。我們可以託他求問耶和華,只是我恨他;因為他指着我所說的預言,不說吉語,常說凶言。」約沙法說:「王不必這樣說。」
Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.”
8 以色列王就召了一個太監來,說:「你快去將音拉的兒子米該雅召來。」
Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”
9 以色列王和猶大王約沙法在撒馬利亞城門前的空場上,各穿朝服坐在位上,所有的先知都在他們面前說預言。
Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe.
10 基拿拿的兒子西底家造了兩個鐵角,說:「耶和華如此說:『你要用這角牴觸亞蘭人,直到將他們滅盡。』」
Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’”
11 所有的先知也都這樣預言說:「可以上基列的拉末去,必然得勝,因為耶和華必將那城交在王的手中。」
Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”
12 那去召米該雅的使者對米該雅說:「眾先知一口同音地都向王說吉言,你不如與他們說一樣的話,也說吉言。」
Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”
13 米該雅說:「我指着永生的耶和華起誓,我的上帝說甚麼,我就說甚麼。」
Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”
14 米該雅到王面前,王問他說:「米該雅啊,我們上去攻取基列的拉末可以不可以?」他說:「可以上去,必然得勝,敵人必交在你們手裏。」
Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”
15 王對他說:「我當囑咐你幾次,你才奉耶和華的名向我說實話呢?」
Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”
16 米該雅說:「我看見以色列眾民散在山上,如同沒有牧人的羊群一般。耶和華說:『這民沒有主人,他們可以平平安安地各歸各家去。』」
Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’”
17 以色列王對約沙法說:「我豈沒有告訴你,這人指着我所說的預言,不說吉語,單說凶言嗎?」
Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?”
18 米該雅說:「你們要聽耶和華的話。我看見耶和華坐在寶座上,天上的萬軍侍立在他左右。
Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono.
19 耶和華說:『誰去引誘以色列王亞哈上基列的拉末去陣亡呢?』這個就這樣說,那個就那樣說。
Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri.
20 隨後,有一個神靈出來,站在耶和華面前說:『我去引誘他。』耶和華問他說:『你用何法呢?』
Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ “Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’
21 他說:『我去,要在他眾先知口中作謊言的靈。』耶和華說:『這樣,你必能引誘他,你去如此行吧!』
“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’
22 現在耶和華使謊言的靈入了你這些先知的口,並且耶和華已經命定降禍與你。」
“Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”
23 基拿拿的兒子西底家前來打米該雅的臉,說:「耶和華的靈從哪裏離開我與你說話呢?」
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”
24 米該雅說:「你進嚴密的屋子藏躲的那日,就必看見了。」
Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
25 以色列王說:「將米該雅帶回,交給邑宰亞們和王的兒子約阿施,說:
Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira,
26 『王如此說:把這個人下在監裏,使他受苦,吃不飽喝不足,等候我平平安安地回來。』」
mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’”
27 米該雅說:「你若能平安回來,那就是耶和華沒有藉我說這話了」;又說:「眾民哪,你們都要聽!」
Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”
28 以色列王和猶大王約沙法上基列的拉末去了。
Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
29 以色列王對約沙法說:「我要改裝上陣,你可以仍穿王服。」於是以色列王改裝,他們就上陣去了。
Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.
30 先是亞蘭王吩咐車兵長說:「他們的兵將,無論大小,你們都不可與他們爭戰,只要與以色列王爭戰。」
Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.”
31 車兵長看見約沙法便說,這必是以色列王,就轉過去與他爭戰。約沙法一呼喊,耶和華就幫助他,上帝又感動他們離開他。
Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo.
32 車兵長見不是以色列王,就轉去不追他了。
Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.
33 有一人隨便開弓,恰巧射入以色列王的甲縫裏。王對趕車的說:「我受了重傷,你轉過車來,拉我出陣吧!」
Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.”
34 那日陣勢越戰越猛,以色列王勉強站在車上抵擋亞蘭人,直到晚上。約在日落的時候,王就死了。
Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.

< 歷代志下 18 >