< 撒母耳記上 28 >

1 那時,非利士人聚集軍旅,要與以色列人打仗。亞吉對大衛說:「你當知道,你和跟隨你的人都要隨我出戰。」
Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.”
2 大衛對亞吉說:「僕人所能做的事,王必知道。」亞吉對大衛說:「這樣,我立你永遠作我的護衛長。」
Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.”
3 那時撒母耳已經死了,以色列眾人為他哀哭,葬他在拉瑪,就是在他本城裏。掃羅曾在國內不容有交鬼的和行巫術的人。
Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi.
4 非利士人聚集,來到書念安營;掃羅聚集以色列眾人在基利波安營。
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu, ate Sawulo ye n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna ne basiisira e Girubowa.
5 掃羅看見非利士的軍旅就懼怕,心中發顫。
Awo Sawulo bwe yalaba eggye ery’Abafirisuuti, n’atya, emmeeme n’emutyemuka.
6 掃羅求問耶和華,耶和華卻不藉夢,或烏陵,或先知回答他。
Ne yeebuuza ku Mukama, naye Mukama n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi.
7 掃羅吩咐臣僕說:「當為我找一個交鬼的婦人,我好去問她。」臣僕說:「在隱‧多珥有一個交鬼的婦人。」
Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.” Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.”
8 於是掃羅改了裝,穿上別的衣服,帶着兩個人,夜裏去見那婦人。掃羅說:「求你用交鬼的法術,將我所告訴你的死人,為我招上來。」
Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.”
9 婦人對他說:「你知道掃羅從國中剪除交鬼的和行巫術的。你為何陷害我的性命,使我死呢?」
Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?”
10 掃羅向婦人指着耶和華起誓說:「我指着永生的耶和華起誓,你必不因這事受刑。」
Sawulo n’amulayirira eri Mukama ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”
11 婦人說:「我為你招誰上來呢?」回答說:「為我招撒母耳上來。」
Awo omukazi n’amubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” N’addamu nti, “Nyimusiza Samwiri.”
12 婦人看見撒母耳,就大聲呼叫,對掃羅說:「你是掃羅,為甚麼欺哄我呢?」
Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”
13 王對婦人說:「不要懼怕,你看見了甚麼呢?」婦人對掃羅說:「我看見有神從地裏上來。」
Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.”
14 掃羅說:「他是怎樣的形狀?」婦人說:「有一個老人上來,身穿長衣。」掃羅知道是撒母耳,就屈身,臉伏於地下拜。
Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.
15 撒母耳對掃羅說:「你為甚麼攪擾我,招我上來呢?」掃羅回答說:「我甚窘急;因為非利士人攻擊我,上帝也離開我,不再藉先知或夢回答我。因此請你上來,好指示我應當怎樣行。」
Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?” Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”
16 撒母耳說:「耶和華已經離開你,且與你為敵,你何必問我呢?
Samwiri n’amubuuza nti, “Ombuuliza ki, Mukama ng’amaze okukuvaako n’okufuuka omulabe wo?
17 耶和華照他藉我說的話,已經從你手裏奪去國權,賜與別人,就是大衛。
Mukama atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi.
18 因你沒有聽從耶和華的命令;他惱怒亞瑪力人,你沒有滅絕他們,所以今日耶和華向你這樣行,
Kubanga tewagondera Mukama newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, Mukama kyavudde akukola kino leero.
19 並且耶和華必將你和以色列人交在非利士人的手裏。明日你和你眾子必與我在一處了;耶和華必將以色列的軍兵交在非利士人手裏。」
Mukama alikuwaayo gwe n’Abayisirayiri eri Abafirisuuti, era enkya ggwe ne batabani bo munaaba nange eno gye ndi. Era Mukama anaawaayo eggye lya Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.”
20 掃羅猛然仆倒,挺身在地,因撒母耳的話甚是懼怕;那一晝一夜,沒有吃甚麼,就毫無氣力。
Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo.
21 婦人到掃羅面前,見他極其驚恐,對他說:「婢女聽從你的話,不顧惜自己的性命,遵從你所吩咐的。
Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye.
22 現在求你聽婢女的話,容我在你面前擺上一點食物,你吃了,可以有氣力行路。」
Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.”
23 掃羅不肯,說:「我不吃。」但他的僕人和婦人再三勸他,他才聽了他們的話,從地上起來,坐在床上。
N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.” Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda.
24 婦人急忙將家裏的一隻肥牛犢宰了,又拿麵摶成無酵餅烤了,
Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse.
25 擺在掃羅和他僕人面前。他們吃完,當夜就起身走了。
N’alyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. N’oluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira.

< 撒母耳記上 28 >