< 列王紀上 3 >

1 所羅門與埃及王法老結親,娶了法老的女兒為妻,接她進入大衛城,直等到造完了自己的宮和耶和華的殿,並耶路撒冷周圍的城牆。
Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
2 當那些日子,百姓仍在邱壇獻祭,因為還沒有為耶和華的名建殿。
Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo.
3 所羅門愛耶和華,遵行他父親大衛的律例,只是還在邱壇獻祭燒香。
Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.
4 所羅門王上基遍去獻祭;因為在那裏有極大的邱壇,他在那壇上獻一千犧牲作燔祭。
Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.
5 在基遍,夜間夢中,耶和華向所羅門顯現,對他說:「你願我賜你甚麼?你可以求。」
Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”
6 所羅門說:「你僕人-我父親大衛用誠實、公義、正直的心行在你面前,你就向他大施恩典,又為他存留大恩,賜他一個兒子坐在他的位上,正如今日一樣。
Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero.
7 耶和華-我的上帝啊,如今你使僕人接續我父親大衛作王;但我是幼童,不知道應當怎樣出入。
Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange.
8 僕人住在你所揀選的民中,這民多得不可勝數。
Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika.
9 所以求你賜我智慧,可以判斷你的民,能辨別是非。不然,誰能判斷這眾多的民呢?」
Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”
10 所羅門因為求這事,就蒙主喜悅。
Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo.
11 上帝對他說:「你既然求這事,不為自己求壽、求富,也不求滅絕你仇敵的性命,單求智慧可以聽訟,
Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango,
12 我就應允你所求的,賜你聰明智慧,甚至在你以前沒有像你的,在你以後也沒有像你的。
n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.
13 你所沒有求的,我也賜給你,就是富足、尊榮,使你在世的日子,列王中沒有一個能比你的。
Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo.
14 你若效法你父親大衛,遵行我的道,謹守我的律例、誡命,我必使你長壽。」
Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.”
15 所羅門醒了,不料是個夢。他就回到耶路撒冷,站在耶和華的約櫃前,獻燔祭和平安祭,又為他眾臣僕設擺筵席。
Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto. N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.
16 一日,有兩個妓女來,站在王面前。
Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge.
17 一個說:「我主啊,我和這婦人同住一房;她在房中的時候,我生了一個男孩。
Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali.
18 我生孩子後第三日,這婦人也生了孩子。我們是同住的,除了我們二人之外,房中再沒有別人。
Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
19 夜間,這婦人睡着的時候,壓死了她的孩子。
“Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta.
20 她半夜起來,趁我睡着,從我旁邊把我的孩子抱去,放在她懷裏,將她的死孩子放在我懷裏。
N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange.
21 天要亮的時候,我起來要給我的孩子吃奶,不料,孩子死了;及至天亮,我細細地察看,不是我所生的孩子。」
Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22 那婦人說:「不然,活孩子是我的,死孩子是你的。」這婦人說:「不然,死孩子是你的,活孩子是我的。」她們在王面前如此爭論。
Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.” Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
23 王說:「這婦人說『活孩子是我的,死孩子是你的』,那婦人說『不然,死孩子是你的,活孩子是我的』」,
Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’”
24 就吩咐說:「拿刀來!」人就拿刀來。
Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala.
25 王說:「將活孩子劈成兩半,一半給那婦人,一半給這婦人。」
N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
26 活孩子的母親為自己的孩子心裏急痛,就說:「求我主將活孩子給那婦人吧,萬不可殺他!」那婦人說:「這孩子也不歸我,也不歸你,把他劈了吧!」
Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27 王說:「將活孩子給這婦人,萬不可殺他;這婦人實在是他的母親。」
Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28 以色列眾人聽見王這樣判斷,就都敬畏他;因為見他心裏有上帝的智慧,能以斷案。
Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.

< 列王紀上 3 >