< 哥林多前書 3 >

1 弟兄們,我從前對你們說話,不能把你們當作屬靈的,只得把你們當作屬肉體,在基督裏為嬰孩的。
Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo.
2 我是用奶餵你們,沒有用飯餵你們。那時你們不能吃,就是如今還是不能。
Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola,
3 你們仍是屬肉體的,因為在你們中間有嫉妒、紛爭,這豈不是屬乎肉體、照着世人的樣子行嗎?
kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu?
4 有說:「我是屬保羅的」;有說:「我是屬亞波羅的。」這豈不是你們和世人一樣嗎?
Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu?
5 亞波羅算甚麼?保羅算甚麼?無非是執事,照主所賜給他們各人的,引導你們相信。
Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu.
6 我栽種了,亞波羅澆灌了,惟有上帝叫他生長。
Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza.
7 可見栽種的,算不得甚麼,澆灌的,也算不得甚麼;只在那叫他生長的上帝。
Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza.
8 栽種的和澆灌的,都是一樣,但將來各人要照自己的工夫得自己的賞賜。
Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze.
9 因為我們是與上帝同工的;你們是上帝所耕種的田地,所建造的房屋。
Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10 我照上帝所給我的恩,好像一個聰明的工頭,立好了根基,有別人在上面建造;只是各人要謹慎怎樣在上面建造。
Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako.
11 因為那已經立好的根基就是耶穌基督,此外沒有人能立別的根基。
Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.
12 若有人用金、銀、寶石、草木、禾稭在這根基上建造,
Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro;
13 各人的工程必然顯露,因為那日子要將它表明出來,有火發現;這火要試驗各人的工程怎樣。
omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli.
14 人在那根基上所建造的工程若存得住,他就要得賞賜。
Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera.
15 人的工程若被燒了,他就要受虧損,自己卻要得救;雖然得救,乃像從火裏經過的一樣。
Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.
16 豈不知你們是上帝的殿,上帝的靈住在你們裏頭嗎?
Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?
17 若有人毀壞上帝的殿,上帝必要毀壞那人;因為上帝的殿是聖的,這殿就是你們。
Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
18 人不可自欺。你們中間若有人在這世界自以為有智慧,倒不如變作愚拙,好成為有智慧的。 (aiōn g165)
Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. (aiōn g165)
19 因這世界的智慧,在上帝看是愚拙。如經上記着說:「主叫有智慧的,中了自己的詭計」;
Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.”
20 又說:「主知道智慧人的意念是虛妄的。」
Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.”
21 所以無論誰,都不可拿人誇口,因為萬有全是你們的。
Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe,
22 或保羅,或亞波羅,或磯法,或世界,或生,或死,或現今的事,或將來的事,全是你們的;
oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe,
23 並且你們是屬基督的,基督又是屬上帝的。
nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.

< 哥林多前書 3 >