< 歷代志上 5 >
1 以色列的長子原是呂便;因他污穢了父親的床,他長子的名分就歸了約瑟。只是按家譜他不算長子。
Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye.
2 猶大勝過一切弟兄,君王也是從他而出;長子的名分卻歸約瑟。
Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.
3 以色列長子呂便的兒子是哈諾、法路、希斯倫、迦米。
Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
4 約珥的兒子是示瑪雅;示瑪雅的兒子是歌革;歌革的兒子是示每;
Ab’enda ya Yoweeri baali Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we, ne Simeeyi muzzukulu we.
5 示每的兒子是米迦;米迦的兒子是利亞雅;利亞雅的兒子是巴力;
Mikka yali mutabani wa Simeeyi, ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.
6 巴力的兒子是備拉。這備拉作呂便支派的首領,被亞述王提革拉‧毗列色擄去。
Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.
7 他的弟兄照着宗族,按着家譜作族長的是耶利、撒迦利雅、比拉。
Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano: Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya,
8 比拉是亞撒的兒子;亞撒是示瑪的兒子;示瑪是約珥的兒子;約珥所住的地方是從亞羅珥直到尼波和巴力‧免,
Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri. Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni.
9 又向東延到幼發拉底河這邊的曠野,因為他們在基列地牲畜增多。
Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.
10 掃羅年間,他們與夏甲人爭戰,夏甲人倒在他們手下,他們就在基列東邊的全地,住在夏甲人的帳棚裏。
Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.
11 迦得的子孫在呂便對面,住在巴珊地,延到撒迦。
Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.
12 他們中間有作族長的約珥,有作副族長的沙番,還有雅乃和住在巴珊的沙法。
Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.
13 他們族弟兄是米迦勒、米書蘭、示巴、約賴、雅干、細亞、希伯,共七人。
Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.
14 這都是亞比孩的兒子。亞比孩是戶利的兒子;戶利是耶羅亞的兒子;耶羅亞是基列的兒子;基列是米迦勒的兒子;米迦勒是耶示篩的兒子;耶示篩是耶哈多的兒子;耶哈多是布斯的兒子。
Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.
15 還有古尼的孫子、押比疊的兒子亞希。這都是作族長的。
Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.
16 他們住在基列與巴珊和巴珊的鄉村,並沙崙的郊野,直到四圍的交界。
Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.
17 這些人在猶大王約坦並在以色列王耶羅波安年間,都載入家譜。
Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.
18 呂便人、迦得人,和瑪拿西半支派的人,能拿盾牌和刀劍、拉弓射箭、出征善戰的勇士共有四萬四千七百六十名。
Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana.
19 他們與夏甲人、伊突人、拿非施人、挪答人爭戰。
Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu.
20 他們得了上帝的幫助,夏甲人和跟隨夏甲的人都交在他們手中;因為他們在陣上呼求上帝,倚賴上帝,上帝就應允他們。
Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo.
21 他們擄掠了夏甲人的牲畜,有駱駝五萬,羊二十五萬,驢二千;又有人十萬。
Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi.
22 敵人被殺仆倒的甚多,因為這爭戰是出乎上帝。他們就住在敵人的地上,直到被擄的時候。
Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
23 瑪拿西半支派的人住在那地。從巴珊延到巴力‧黑們、示尼珥與黑門山。
Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.
24 他們的族長是以弗、以示、以列、亞斯列、耶利米、何達威雅、雅疊,都是大能的勇士,是有名的人,也是作族長的。
Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe.
25 他們得罪了他們列祖的上帝,隨從那地之民的神行邪淫;這民就是上帝在他們面前所除滅的。
Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
26 故此,以色列的上帝激動亞述王普勒和亞述王提革拉‧毗列色的心,他們就把呂便人、迦得人、瑪拿西半支派的人擄到哈臘、哈博、哈拉與歌散河邊,直到今日還在那裏。
Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.